
Deus Senyomo eyeesimbyewo ku bwannamunigina okuvuganya ku kifo kya kansala mu KCCA ( LC V) mu miruka gya; Lubaga ne Ndeeba akalulu akongeddemu amaanyi ng'amaliriza. Atambudde nju ku nju ng'asaba abalonzi okumwesiga baamuwe akalulu atereeze ekitundu.Asuubizza okukola ku kizibu ky'emyala emibi egijjudde mu bitundu naddala ebya Ndeeba, n'agamba nti ye yinginiya omutendeke agenda kubinogera eddagala.
Abasabye okumulonda ku Lwokusatu ng'abonero ke ggaali.