Barbie Itungo Kyagulanyi muk'omukulembeze w'ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu alojja ennaku gy'alabidde mu busibe obw'ennaku 11 ze bamaze nga babasibidde awaka.
Agamba nti baali baakamala okulonda ne bayiwa poliisi n'amagye okwetooloola Magere. Olwaddako ne balaba ng'emmotoka zisomba kaabuyonjo z'oku mikolo ne weema z'abajaasi era bagenda okwetegereza nga beetoolodde amaka gaabwe nga tebakkirizibwa na kufuluma ggeeti wadde okugenda mu nnimiro okufuna emmere.
Yategeezezza nti embeera eno yabanyiga nnyo kubanga baali tebagyetegekedde, amasannyalaze gaabaggwaako nga tebalina we bagagula ng'ate n'amasimu baali baagaggyako nga tebawuliziganya na bantu b'ebweru.
Barbie yagambye nti kati balina ku buweerero oluvannyuma lwa kkooti okulagira abajaasi bano okwamuka amaka gaabwe wadde mukyalimu abaserikale ababatambulirako.
Ku Lwokubiri Kyagulanyi yayogeddeko eri ababaka abaayitamu ku kaadi ya NUP mu maka ge e Magere.