Wednesday, January 27, 2021

Omuyimbi awangudde e Kasese

Omuyimbi awangudde e Kasese

OMUYIMBI Chance Kahindo Sibyavugha owa FDC, yawangudde ekya Mmeeya wa Munisipaali y'e Kasese oluvannyuma lw'okuwangula abaddeko. Kahindo omuyimbi ate munnamawulire, yawangudde munna NRM Kabbyanga Baluku Kime.

Ismael Atwijukire Takih akulira ebyokulonda e Kasese yalangiridde Kahindo ku buwanguzi n'obululu 11,572 ate Kabbyanga yafunye obululu 10,937. Yamusinzizza obululu 635.

Kahindo y'abadde ssentebe wa LC III mu ggombolola y'e Kisanga. Mu lwokaano mwabaddemu abalala babiri okwabadde Samuel Ahebwa owa NUP eyafunye 143 n'eyaliko omumyuka wa CAO wa Kasese, Johnson Mutungwanda (IND) yafunye 99.

Olwabadde okumulangirira ku Lwokubiri ku makya, abawagizi ba FDC ne batandika okujaganya n'okuyisa ebivvulu olw'obuwanguzi bwe baafunye.

Kahindo yeeyamye okukola ne Gavumenti okutuusa ku bantu obuweereza n'okubakolera enguudo, okuteeka eddagala mu malwaliro n'ebirala.

Ye gwe yawangudde, yakkirizza ebyavudde mu kalulu era n'ayozaayoza Kahindo n'asaba abantu bamuwagire asobole okubaweereza obulungi.

Ate owa NUP naye yakkirizza ebyavudde mu kalulu n'asaba Kahindo obutekkiriranya n'okusindiikiriza b'abadde avuganya nabo ne yeeyama okukolera awamu okutwala Kasese mu maaso.

Ashiraf Nasser owa NRM, yawangudde ku kifo kya Mmeeya wa Jinja City South Division n'obululu 6,910 n'addirirwa Badman Kibugudhu owa NUP eyafunye obululu 3,749.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts