Friday, January 8, 2021

By'obadde tomanyi ku bantu 11 abeesimbyewo okuvuganya ku Bwapulezidenti

By'obadde tomanyi ku bantu 11 abeesimbyewo okuvuganya ku Bwapulezidenti

BYA HUZAIMA  KAWEESA

NGA kampeyini zisemberedde okufundikirwa nga n'okulonda Pulezidenti okugenda okubaawo nga January 14 kubindabinda, Bukedde  akusonjoledde ebitonotono by'olina okumanya ku beesimbweo ku kifo kino.
Olwokaano luno lulimu abavuganya 11 nga ku bano kwe kujja okuva anaakulembera eggwanga, emyaka etaano egiddako.

YOWERI KAGUTA MUSEVENI

Ye mukulembeze w'eggwanga aliko kati ng'afuze  okuva mu 1986 oluvannyuma  lw'olutalo lw'omu nsiko olwaliwo ng'awakanya okubbibwa kw'obululu oluvannyuma lw'akalulu akaakubwa  mu 1980. Mu kulonda okwo Museveni yali yeesimbyewo mu kibiina kya U.P.M  kye yali akulembera.

Olutalo lw'omu nsiko lwalwanibwa abayeekera abaali beegattira mu  National Resistance Army (NRA) .

Museveni  yazaalibwa  mu 1944 e Rukungiri nga bazadde be ye Amos Kaguta  ne Esteri Kokundeka Nganzi (kati abagenzi).

Yasomera mu Kyamate elementary school , Mbarara High School ne Ntare gye yava okwegatta ku yunivasite of Dar es Salaam e Tanzania mu 1967 ng'eno yasomerayo ebyenfuna n'ebyobufuzi.

Nga ali mu bukulembeze, Museveni azze alwana entalo ez'enjawulo nga muno mwemuli n'olutalo olw'abayeekera  ba Lord's Resisitance Army (LRA) abaakulemberwanga Joseph Kony.

Mukyala we Janet  Kataha ye minisita w'eby'enjigiriza nga  bano baafumbiriganwa mu  1973.
Pulezidenti Museveni  akomyewo  okuvuganya mu kalulu akagenda okubeerawo  mu mwaka ogujja 2021 nga ono  y'akwatidde ekibiina kya NRM bendera mu kifo kino.

ROBERT KYAGULANYI SENTAMU

Kyagulanyi  yazaalibwa mu 1982 e Gomba  mu ddwaaliro lya Nkozi  nga nnyina  Margaret  Nalunkuuma  (kati omugenzi)  eno gye yali akolera.  Kitaawe  ye Jackson Wellington Sentamu (omugenzi).

Kyagulanyi  yakulira mu bitundu bye Kamwokya ku nkingizzi z'ekibuga Kampala era yasomerako  ku ssomero lya Kitante High school  gye yatuulira  S.4 mu 1996 olwo S.6 n'agituulira ku Kololo Senior Secondary School mu 1998.

Oluvannyuma yeegatta ku yunivasite e Makerere  gye yasoma eby'okuyimba , okuzina ne Katemba n'afuluma  mu 2003.
Mu 2016, Kyagulanyi yeegatta ku  International University of East Africa (IUEA).

Ebyobufuzi bye abadde abiyisa mu nnyimba ezitali zimu z'azze ayimba nga zonna zeetoolera ku mbeera z'abantu ze bayitamu n'ebyenfuna, nga mu nsiike y'okuyimba amanyiddwa nga Bobi wine. Yatandika olugendo lw'okuyimba mu 2000 nga n'ekibiina kye kiyitibwa FireBase.

Yalondebwa ku bubaka bwa palamenti obwa Kyadondo East mu 2017, gy'avudde okwesimba ku Bwapulezidenti .Nga  July 24 2019 Kyagulanyi  yalangirira nga bweyali agenda okuvuganya ku  kifo ky'obukulembeze bw'eggwanga  .

Mu  July wa 2020 yalangirira nga bwe yali  yeegasse  ku kibiina ky'ebyobufuzi ekya National  Unity Platform  (NUP) nga era yalondebwa   okukwatira ekibiina kino bendera ku kifo ky'obukulembeze bw'eggwanga mu kalulu akagenda okubeerawo nga January 14 2021.

Mukyala we Barbara Itungo eyakazibwaako erya Barbie  baafumbiriganwa mu 2011 era nga mu kiseera kino balina abaana bana. Amaka  gaabwe gasangibwa Magere mu disitulikiti ya Wakiso.

NOBERT MAO

Mao yazaalibwa  mu 1967 n'asomera  ku Mwiri  Primary School ne Wairaka College e Jinja gye yava ne yeegatta ku Namilyango  College e Mukono gye yamalira S.6 olwo ne yeegatta ku yunivasite e Makerere gye yasomera amateeka era yali mukulembeze  w'abayizi  wakati wa 1990 ne 1991.

Yeeyongerayo mu yunivasite e Yale okwongera okukuguka era oluvannyuma  yakolako mu bitongole eby'enjawulo nga munnamateeka.

Mu 1996 Mao yayingira palamenti nga akiikirira munisipaali ya Gulu kyokka mu 2006 yavaayo mu palamenti n'alondebwa ku Bwassentebe wa disitulikiti ya Gulu.

Yeesimbawo ku lwa  Democratic Party (DP)  mu kalulu k'okulonda Pulezidenti aka 2011 yera ne mu 2016 yaddamu n'avuganya ku kifo kye kimu kyokka era n'awangulwa.

Ne ku mulundi guno Mao  era akomyewo okuvuganya mu kalulu ka 2021 ku kifo ky'Obwapulesidenti  era nga y'akwatidde ekibiina kya DP bendera.

HENRY  TUMUKUNDE

Tumukunde yazaalibwa mu 1959 e Rukungiri n'asomera ku Bishop Stuart college demonstration school , Kibuli  Secondary School  gye yamalira siniya eyookuna  ne  Kigezi  College  gye yamalira siniya eyoomukaaga gye yava okwegatta ku yunivasite e Makerere.

Ono munnamagye eyawummula nga yaweerezanga mu ggye lya Uganda erya  Uganda People's Defence Force (UPDF).

Mu June wa 2016 Tumukunde yalondebwa nga minisita w'eby'okwerinda by'eggwanga Uganda okutuusa mu March wa 2018. Ng'oggyeeko okubeera munnamagye, ono munnamateeka omutendeke .

Wakati wa 1995 ne 2005 yali mukiise mu  palamenti ng'akiikirira amagye g'eggwanga.

Nga  march 3 2020 yalangirira nga bw'ajja okwesimbawo  ku Bwapulezidenti.

Azze akuzibwa ku madaala ag'enjawulo mu magye okutuusa bw eyatuuka ku ddaala lya lieutenant  General. Nga ky'ajje alangirirebw'agenda okuvuganya ku bukulembeze bw'eggwanga yakwatibwa  olw'ebigambibwa nti yalya mu nsi ye olukwe.
Tumukunde mufumbo  nga mukyala we ye Stella Tumukunde.

GREGORY MUGISHA MUNTU

Yazaalibwa mu October wa 1958 e Ntungamo. Bazadde be ye Enock Ruzima Muntunyera ne Aida Matama.

Yasomera ku Mbarara Junior school , Kitunga primary school ne Kitunga High school ng'essomero lino eyaliko Pulezidenti wa Uganda Milton Obote oluvannyuma yalituuma erinnya eddala erya Muntuyera High School.

Yeegatta ku Makerere College School gye yava okwegatta ku yunivasite e Makerere gye yakugukira mu byobufuzi.

Muntu munnamagye eyawummula nga y'akulembera ekibiina kye yatondawo mu March wa 2019 ekya Alliance for National Transformation (ANT).

Yeegatta ku ggye lya NRA erya Yoweri Museveni ku lunaku lwennyini lwe yamaliriza ebigezo bye eby'akamalirizo ku yunivasite. 
Muntu yagendako e Russia okwongera okutendekebwa muby'amagye era azze akula mu madaala okutuuka ku kitiibwa kya Major General.

Mu 2018 Muntu yava mu  kibiina ki FDC oluvannyuma lw'obutamatira na bukulembeze bwa Patrick Oboi Amuriat eyali alondeddwa okukulembera ekibiina kino.

Muntu yaliko omuduumizi w'amagye okuva mu 1989-1998, oluvannyuma mu 2008 yeesimbawo okuvuganya ku Bwapulezidenti bw'ekibiina ki FDC n'awangulwa kyokka oluvannyuma yamala n'alondebwa nga pulezidenti w'ekibiina kino mu 2012.

JOSEPH KABULETA.

Musumba ,muwandiisi wa butabo ,yaliko munnamawulire ,musuubuzi ate munnabyabufuzi.

Kabuleta yazaalibwa mu March 1972  nga bazadde be ye Margaret ne John Kabuleta. Kitaawe yali mubazi wa bitabo mu Kenya nga yali akola mu East African Community. 

Kabuleta yakulira Lubaga mu Kampalawadde nga famire ye yamala n'eddayo e Hoima mu Bunyoro awali obuzaale bwa kitaawe.
Okusomakwe yakutandikira ki Buganda Road Primary School mu 1978.

Yeegatta ku Namilyango Junior gye yamalira pulayimale mu 1984 ne Namilyango College gye yamalira siniya.
Oluvannyuma yeegatta ku Mbale Technical College n'akuguka mu by'obuzimbi .

Yakolako nga omuwandiisi w'amawulire mua New Vision era yakulirako ekibiina ekitaba bannamawulire abasaka ag'eby'emizannyo ekya Uganda Sports Press Association (USPA) wakati wa 2003 ne 2007. 

Yawummula eby'amawulire mu 2018 kyokka mu 2019 n'akwatibwa n'aggulwako omusango gw'okukozesa obubi kompyuta nga ateekako obubaka obukolokota Gavumenti.

Mu July wa 2020 Kabuleta yalangirira mu butongole nga bw'agenda okwesimbawo ku Bwapulezidenti era avuganya nga talina kibiina kya byabufuzi kyonna mw'asinziira.

PATRICK OBOI AMURIAT.

Yinginiya  Patrick Oboi Amuriat yazaalibwa Soroti mu buvanjuba bwa Uganda,  nga bakadde be ye  John Amuriat ne Elizabeth Aciro (Kati omugenzi).

Amuriat alina diguli mu byenjigiriza ,yakuguka mu bwayinginiya era alina diguli gye yafunira ku yunivasite e Makerere.

Ebyobufuzi yabiyingira mu 1994. Wakati wa 2001 ne 2016 yali mukiise mu palamenti ng'akiikirira Kumi county.

Mu 2015 yalondebwa  okuba ssaabakunzi mu FDC era kati  Amuriat ye pulezidenti w'ekibiina ki FDC okuva lwe yalondebwa nga Nov. 24 2017.

Amuriat ye  pulezidenti w'ekibiina kino owookusatu nga yadda mu bigere bya Mugisha Muntu.

Mu kugenda okwewandiisa okuvuganya ku Bwapulezidenti, abakuumaddembe baamukunguzza tayambadde ngatto era naye n'asalawo kampeyini zonna ez'obwapulezidenti okuzikola nga tayambadde ngatto.

NANCY KALEMBE.

Kalembe ye mukya yekka Ali mu lwokaano luno. Yazaalibwa George Patrick Bageya eyali ssentebe wa LC V e Iganga mu Busoga ate nnyina ye Aida Cissy Kubaaza.

Yasomerako ku St.Mary's college Namagunga gye yamalira S.4 ne Mariam High school gye yatuulira S.6 .
Mu 2003 ng'ali mu mwaka gwe ogusooka e Makerere yavuganya mu mpaka za Miss Uganda newankubadde teyawangula.

Oluvannyuma yafuna enkwatagana ne bbanka ya PHP Nigeria n'afunayo omulimu ng'eno gye yava n'akomawo kuno n'atandika okukola mu Orient Bank gye yava mu 2010 essira n'alissa ku mirimu gye egya bizinensi.

FRED MWESIGYE

Yazaalibwa mu September wa 1956. Mwesigye munnamagye era mubaka akiikirira Nyabushozi.

Yaliko omuduumizi mu ggye lya UPDF era  y'omu ku bantu 27 abaasooka mu lutalo lwa 1981.

Yasomera ku Kazo Primary school , Makobore High School ne ku yunivasite e Makerere gye yafunira diguli mu byobusuubuzi.
Mu 2010 yafuna diguli endala mu butebenkevu era okuva e Makerere.

Mwesigye abadde mu kifo ky'omubaka wa palamenti okuva mu 2011.

WILLY MAYAMBALA

Mayambala naye avuganya ku kifo ky'obukulembeze bw'eggwanga nga talina kibiina kya byabufuzi mw'ajjidde.

JOHN KATUMBA

Katumba ku myaka 24 gy'alina akoze ekyafaayo nga omuntu akyasinze obuto okuvuganya ku bukulembeze bw'eggwanga.  Yazaalibwa mu 1996 nga bazadde be, Bakkonde baafa akyali muto. Asibuka Buikwe.

Katumba naye yeesimbyewo  bwannamunigina mu kalulu ka 2021.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts