BANNAKIBIINA kya NRM abakwasibwa bbendera z'ekibiina ku mutendera gw'obwakansala ba LC3 okwetoloola Kampala abasoba mu 400 beekalakaasizza ne balaga amasowaani aga kyenvu okutali wadde akantu nga bakukkulumira ekibiina kyabwe obutabawagira kimala mu kutambuza kampeyini .
Bano nga bakulembedwamu Geofrey Mugisha eyeesimbye ku bwakansala bwa LC3 mu Kasubi bakungaanidde Kanyanya ku City Bar we bakoledde okwekalakaasa kwabwe okweddembe nga bawanjagira Pulezidenti Museveni ssentebe w'ekibiina kyabwe okuvaayo abayambe kubanga kampeyini zibayinze olw'ebbula ly'ensimbi.
Mu kwekalakaasa basazeewo okukwata amasowani ga kyenvu okutali kantu ng'akabonero akalaga nti wadde bali mu kibiina ekiri mu buyinza kyokka bo tebafiiridwako kuwagirwa mu byansimbi kyokka abantu be bassaamu akalulu akaabwe n'aka Pulezinti bwe babalaba balowooza nti balina ssente z'okubawa ate ze batalina.
Bagamba nti emyaka egiyise buli kansala abadde aweebwa 5,000,000/= okukuba kampeyini kyokka ku mulundi guno baabawadde 550,000/= ezitalina kye ziyinza kukola.
Bagambye nti kati baagala kimu kye beetaaga mu kiseera kino kwekusisinkana omukulembeze bamunnyonnyole ekituufu ekiri mu bantu awatali ekyo wadde bakakasa nti obuwagizi mwe buli naye bandikubwa ekyobugazi olwababuzaabuza ssentebe w'ekibiina kyabwe kubanga abakulu mu kibiina babakaabidde ekimala nga tebabayamba.