Tuesday, January 26, 2021

CRANES ERI KU SSAALA

CRANES ERI KU SSAALA

Bya HUSSEIN BUKENYA
Leero mu CHAN
Togo - Rwanda, 4:00
Morocco - Uganda, 4:00
LEERO (Lwakubiri) Uganda Cranes lw'eggyawo oba okunnyikiza likodi embi ey'obutasukkangako nzannya za bibinja mu mpaka za Afrika eza CHAN. Ettunka ne bakyampiyoni aba Morroco gy'erina okuwangula bw'eba yaakuva mu kibinja mu mpaka zino eziyindira e Cameroon.
Emirundi ena Cranes gye yaakeetaba mu mpaka zino eziwakanirwa abazannyi ba liigi z'awaka bokka, tevuddenga mu kibinja nga lwe yaakasinga okukola obulungi, yawangula Burkina Faso (2-1) mu zaali e South Afrika mu 2018.
Morocco y'ekulembedde ekibinja kino (C) n'obubonero 4 ng'eddiriddwa Togo (3), Rwanda (2) ate Cranes y'ekoobedde n'akabonero kamu. Omulundi gwokka (cranes ne Morocco) gwe baakasinsinkana mu mpaka zino, Morocco yawangula (3-1). Wabula mu gwa leero omutendesi wa Cranes, Johnathan McKinstry agamba nti balina obusobozi obuwangula ne beesogga ‘quarter'.
"Tewali mbeera etumalamu maanyi kuba tukyasobola okuyitawo era ekigendererwa kyaffe eky'okuva mu kibinja kikyaliwo. Singa tuzannya bulungi nga bwe kyabadde ku Togo naddala mu kitundu ekyokubiri ne twongerako okuyaayaanira okuteeba, tugenda kufuna obuwanguzi ku Morocco," McKinstry bwe yaweze.
CRANES YEETAAGA KI?
Obuwanguzi bwonna buyisaawo Cranes kyokka erina okukozesa amaanyi ag'ensusso kuba ne Morocco egwetaaga ekulembere ekibinja esobole okusisinkana akutte ekyokubiri mu kibinja ekirala.
Ekizibu kya Cranes abateebi baayo bakyalemeddwa okuteeba sso nga n'omutendesi akyabuliddwa abatuufu abalina okutandisa.
McKINSTRY AWERA "Guno tugenda kuguzannya nga fayinolo, era buli muzannyi akimanyi nti tulina okweyongerayo. Tewali ngeri yonna gye tugenda kuzannya 'quarter' nga tetuwangudde mupiira guno ate nga kye kigendererwa kyaffe," McKinstry bw'agamba.
TOGO NE RWANDA BALWANA Togo nayo erwana kuwangula Rwanda eweze obubonero 6, wabula ne Rwanda obuwanguzi ebwagala egende ku bubonero 5 eyitewo.
EY'ABATO EYISE WAGONDA Mu kiseera kye kimu, ttiimu y'eggwanga ey'abatasussa myaka 20 (The Hippos), eteereddwa mu kibinja A omuli Mauritania abategesi, Cameroon ne Mozambique, mu bululu bw'empaka za Afrika obwakwatiddwa eggulo. Zitandika February 14 zikomekerezebwe nga March 7 e Mauritania. Empaka ziri mu bibinja bisatu (3), nga buli kimu kirimu ttiimu nnya omulina okuva ebbiri ezineeyongerayo ku 'quarter'.
Zino zaakwegattibwako ttiimu endala ebbiri ezinaaba zisinze okukola obulungi mu banaakwata ekyokusatu. Ttiimu ennya ezinaatuuka ku semi, zaakukiikirira Afrika mu World Cup ey'okubeera mu Indonesi mu November. Morley Byekwaso, atendeka The Hippos yategeezezza nti beetegefu okuva mu kibinja kuba balina ttiimu ennungi.
"Ekibinja si kyangu naye tusobola okukivaamu. Abategesi batera okubeera abazibu naye bwe twetegeka obulungi tubasobola, ne tulinda kwambalagana ne Cameroon" Byekwaso bwe yategeezezza. Mu kiseera kino, The Hippos etendekerwa mu kisaawe kya KCCA e Lugogo.
Yaakuzannya ogw'okwegezaamu ne KCCA enkya ku Lwokusatu mu kisaawe kye kimu. Beakwaso yasazeeko abazannyi 7 n'asigaza 30 bagenda okwongera okwetegereza alabe abasinga okubeera n'omutindo, b'anaateeka mu ttiimu egende a Mauritania.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts