Tuesday, January 26, 2021

'Obululu bw'e Kalungu buddemu okubalibwa'

'Obululu bw'e Kalungu buddemu okubalibwa'

KKOOTI ento e Masaka eragidde obululu bwa Kalungu East buddemu okubalibwa.
Omulamuzi Charles Yeitesi, atwala kkooti eno, yakkiriziganyizza ne Minisita w'Ebyobulimi n'Obulunzi, Vincent Bamulangaki Ssempijja, eyasabye obululu okuddamu okubalibwa ng'agamba nti obululu bwe obusinga tebwabalwa.
Minisita Ssempijja.
Mu kulonda kwa Pulezidenti n'ababaka ba Palamenti okwaliwo nga January 14, Ssempijja yawanguddwa Francis Katabaazi (NUP), eyafunye obululu 12,198. Ssempijja - NRM, yafunye 10,865, Umar Lule Mawiya (6,427) ate Didas Mugooma n'abuukayo ne 2,304. Bombi tebalina kibiina.
Ssempijja ayise mu munnamateeka we, Geoffrey Kandeebe, n'alumiriza nti ba agenti be baagobwa mu bifo ebirondebwamu ne we baali babalira obululu, sso nga n'abaali bakulira ebyokulonda tebaalaganga bantu mpapula kwe baalondera, nga mu kavuyo kano obululu we bwaweerwa eyamuwangula, n'awunzika nga bwatakkiriziganya na byalangirirwa Ann Namatovu, akulira okulondesa e Kalungu.
Obululu wakati wa Ssempijja ne Katabaazi buli,1,333. Omulamuzi Yeitesi yalagidde akakiiko k'ebyokulonda ne poliisi okutwala bookisi z'ebifo ebyemulugunyizibwako mu kkooti leero (Lwakubiri), okubala obululu kuddibwemu. Ebifo ebyemulugunyizibwako biri 36.
Kuliko Bugonzi P/S, Lutengo Playground, Masaba playground A-M ne N-z, Kasasa P/S, Bulingo P/S, Kiti Moslem, Kakwanzi COU, Lugalama COU, n'ebirala. Katabaazi yagambye takkiriziganya na nsalawo eno, era agenda kutuula ne bannamateeka be balabe ekiddako.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts