Tuesday, January 26, 2021

Eee...mpise mu tanuulu okuwangula owa NUP - owa NRM alojja

Eee...mpise mu tanuulu okuwangula owa NUP - owa NRM alojja

Mpise mu tanuulu okuwangula owa NUP, Nnaalongo Harriet  Nanyonjo owa  NRM,  bw'alojja bye yayiseemu okuwangula ekifo kya kkansala omukyala ow'omuluka bwa Najjanankumbi II.

Ono era ye kkansala abadde mu kifo kino ebisanja bibiri, agamba okuwangula omundi guno ayise ku lugwanyu, munne Nuru Mugwanya owa NUP bwe babadde ku mbiranye kata amusuuze ekifo. Bamulangiridde ku kifo kino Ku ssaawa 11:00 nga bukya.

Okulonda yagenze n'abalongo be n'ategeeza nti afunye emikisa mingi okuva bwe yazaala abalongo, era baakulembeza mu buli nsonga omuli n'okufuna obuwanguzi bw'atuuseeko.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts