Tuesday, January 26, 2021

Owa NRM awangudde obwameeya bwa Jinja Southern Division

Owa NRM awangudde obwameeya bwa Jinja Southern Division

ASHRAF Nasser ow'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) awangudde ekifo kya Meeya wa Jinja Southern Division.

 Nasser awangulidde ku bululu 6910 n'addirirwa Badman Kibugudhu owa NUP mu kyokubiri n'obululu 4973 ate Kirunda Mubarak eyeesimbawo ku lulwe n'akwata eky'okusatu n'obululu 3749.

        Ashraf Nasser Owa Nrm Eyawangudde Obwameeya.

 Abalala abaavuganyizza ku kifo kino kuliko; William Ebusa owa Forum for Democratic Change (FDC) eyafunye 3319, Simon Kasirye owa Alliance for National Transformation (ANT) eyafunye 1525, Rashid Lubega ne 258, Andrew Ikona n'afuna 177 ate Samuel Muvaliwo n'afuna 65.

Oluvannyuma lw' akulira akakiiko ky'ebyokulonda mu kibuga Jinja, Jennifer Kyobutungi okulangirira Ashraf Nasser ku buwanguzi, abawagizi ba Nasser babuukidde waggulu nga jjanzi ne bajaganya naye ku kifo we babalide obululu ku ssomero lya Jinja SSS.

Okubala obululu kutute olunaku lumu n'ekitundu era olumaze okulangirirwa Nasser n'awera mu maaso ga bannamawulire nti agenda kukunga abakulembeze abalala bakulaakulanye Jinja South Division.

Yasabye abayiseemu ku bwakansala ku lukiiko lwa Jinja Southern Division okukolagana naye bakulaakulanye ekitundu kyabwe.

Nasser yayongeddeko nti agenda kufuba okuyonja ekibuga Jinja ng'akwatagana n'ababeeramu okuyoola kasasiro ku nguudo zinyirire nga ekigendelerwa kya kulaba nga basikiriza bayinvesita. 

Asiimye Bannajinja abamutaddemu obwesige ne bamulonda mu kifo kino.


Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts