Tuesday, January 5, 2021

Engeri gy'okwatamu omuvubuka ng'atandise okwewaggula

Engeri gy'okwatamu omuvubuka ng'atandise okwewaggula

OMUZE gw'abaana okwewaggula mu bazadde baabwe gweyongedde nnyo ensangi zino. Ky'ova olaba nti osanga abaana abasukka mu mukaaga nga basula mu kazigo kamu ate nga n'olumu babeera abawala n'abalenzi.

Okusinziira ku Ahmed Kijjambu, Omutongole wa Kabaka e Kasubi - Ssaabawaali era nga mukugu mu kugunjula abaana agamba nti ensonga nnyingi ezivuddeko abaana okwewaggula.

1 Obwavu. Omuzadde yenna kimukakatako okuwa omwana we buli kye yeetaaga okutuuka ng'essaawa entuufu ey'okuva awaka agende ewuwe etuuse. Kyokka olw'obwavu obususse mu bantu naddala ennaku zino weekanga nti abazadde tebasobola kulabirira baana. Kino kiwa omwana omwagaanya kuba nga yeesalirawo mu bintu bingi olwensonga nti, ng'omuzadde tatuukiriza buyinza bwe mu bujjuvu n'omwana amulaba nga atamulinaako buyinza mu bujjuvu.Oluusi ekivaamu kwewaggula n'atandika okwetwala.

2 Ebikoosi. Abaana bangi badduka ewaabwe oba beewaggula awaka olw'amagezi ge bafuna mu bikoosi bye baba beegasseemu ebibawubya.

3 Emirimu. Ennaku zino abazadde emirimu gibalamawo nnyo. Obudde bwe bafuna okufaayo okulabirira n'okulondoola abaana baabwe entambula zaabwe butono ne weekanga nti omwana agenda ayonooneka mpola mpola olw'okuba omuzadde akulembeza mirimu.

4 Amateeka ga Gavumenti. Abaana bangi ennaku zino bawanyagadde nnyo olw'okuba nti Gavumenti ebatiitiibya ennaku zino, omwana olukola omusango omuzadde n'amubonereza, ng'adduka ku poliisi. Ky'ova olaba kati omuzadde bw'aba abonereza omwana tateekamu maanyi nnyo anti abaana baafuuka ba Gavumenti.

5 Okwegomba kususse mu baana. Abaana bangi bayitiriza okwegomba ebintu bye batalina busobozi kubyetuusaako, era gye biggweera nga beewaggudde kubanga basuubira nti bye batalina bagenda kubifuna nga bavudde awaka.

6 Abazadde tebakyayagala kubagambira ku baana. Abaana baabanga ba kyalo era nga buli muntu omukulu ku kyalo atwala obuvunaanyizibwa okugunjula abaana kyokka mu kiseera kino buli muzadde tayagala kumugambira ku mwana we, wadde ng'aba akimanyi bulungi nti tasobola kumulondoola buli ntambula ze. Gye biggweera ng'omwana yeenyigidde mu bintu ebimuviirako okwewaggula awaka.

7 Okutulugunyizibwa kw'abaana awaka. Abaana abamu badduka awaka olw'embeera gye baba bayisibwamu. Abamu babeera batuntuzibwa bazadde baabwe bennyini ate abalala nga batuntuzibwa abo be babeera nabo, okugeza abakozi.

8 Enjawukana mu bazadde. Abazadde bangi babeera awaka nga babeera mu kuyombagana na kulwanagana emirembe ne gibula awaka. Kino kireetera abaana nabo okwekyawa n'okwetamwa ennyombo za bazadde baabwe, ekivaamu kusalawo kudduka waka bagende gye banaabeera n'eddembe.

9 Eddiini yaggwa mu maka g'abantu. Omwana yenna alina eddiini mu mutima alina ebintu by'aba tasobola kwenyigiramu kubanga abeera awa bazadde be ekitiibwa ng'agoberera Bayibuli. Naye atalina ddiini kyangu nnyo okuwugulibwa nga tasoose kwebuuza ku Katonda mu mutima gwe.

10 Emyaka. Waliwo emyaka ng'omuzadde alina okugyegendereza ennyo naddala omwana w'avubukira kubanga gibaamu ebintu bingi omuli amalala, okwewulira eryanyi era emirundi mingi omuzadde bw'aba tafuddeeyo mu kiseera ekyo weekanga omwana yeewaggudde.

11Tekinologiya. Embeera ya tekinologiya eri waggulu nnyo. Abaana b'omulembe guno ebintu bingi bye bagoberera ku masimu, ku mutimbagano ne ttivvi. Bino oluusi basalawo okubigoberera, gye biggweera nga bakoze okusalawo okukyamu.

12 Abafumbo okwawukana. Amaka ssinga gasasika, kiba kizibu abaana okusigala ku mulamwa. Amaka bwe gaba amanywevu, abaana bayinza obutewaggula kuba baba bafuna kye baagala okuva mu bazadde baabwe. Era ne bwe baba bawaba, kiba kyangu abazadde bombi okubatuuza ne babazza mu kkubo ettuufu. Wabula ssinga omu ku bazadde tabaawo, kyangu omwana okutandika okuwaganyala ku muzadde gw'abeera asigadde naye. Ate ebiseera ebisinga omuzadde bw'aba abeera yekka n'abaana ebyokukola biba bingi era ayinza obutafuna budde bumala kulondoola ebigenda mu maaso mu bulamu bw'omwana.

13 Obutabeera na mpuliziganya nnungi n'omwana. Abazadde abamu bakitwala nti omwana ateekeddwa kukola ebyo omuzadde by'amulagira, era ab'engeri eno tebatera kufaayo kuwuliriza baana baabwe. Ekivaamu ye mwana okukitwala nti tayagalwa, tafiibwako n'afuna omutima oguteeyagala n'obutayagala abamuliraanye. Omwana bw'atuuka mu mbeera eno, kyangu okwewaggula n'ava n'awaka, oba okutandika okugaana okukola ebyo ebiba bimulagiddwa. Ate abalala beeyisa mu ngeri y'okwewaggula nga baagala abazadde babafeeko.

14 Obwavu bwe buyitirira awaka, oluusi kireetera abaana okwetamwa ne batuuka n'okuva awaka basobole okunoonya gye banaafunira emirembe nga basobola n'okufuna ku kasente akawera.

ENGERI GY'OZZA OMWANA EYEEWAGGUDDE:                                                                                                            Kijjambu agamba nti wadde omwana abeera yeewaggudde kyokka omuzadde era abeera akyasobola okusala amagezi okumuzza awaka ng'ayita mu ngeri zino wammanga.

􀁺Okukozesa abantu abatali b'awaka. Emirundi mingi omwana bwe yeewaggula atuuka ng'amanyi abawaka mwenna balabe be era ne kye muyinza okusalawo gy'ali kikyamu noolwekyo kyemuva mutasaanidde kwenyigira mu kumuzza butereevu wabula okufuna abantu b'ebweru ne boogera n'omwana oyo.

􀁺 Okumanya ekyavaako omwana okwewaggula. Abaana abamu badduka awaka lwa mbeera ebadde ebanyigiriza. Noolwekyo ggwe ng'omuzadde ayagala okuzza omwana olina okusooka okumanya ekyamuviirako okudduka awaka n'okitereeza olwo n'omwagazisa okudda.

􀁺 Weewale obukambwe. Emirundi mingi omuzadde bw'alaba ng'omwana awuguka, eyandibadde atuula naye n'amuyamba okukola okusalawo okutuufu ate alowooza kukambuwala ekitali kituufu, kubanga omwana oyo abeera yakyuse dda obwongo nga yeetaaga kuzza ngulu.

􀁺 Okufuna abakugu mu nsonga z'abaana. Waliwo abantu abalina obumanyirivu mu kwogera n'abaana nga singa omwana abeera akyusizza mu ngeri gye yeeyisaamu oba ng'atandise okwewaggula, aba yeetaaga kumutwala ew'omukugu mu nsonga z'abaana ayogereko naye ng'embeera tennayoyoonekera ddala. 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts