Tuesday, January 5, 2021

Baabano abasomesa abakozesezza ekiseera kyomuggalo okuzimba omutimbagano ogusomesa abayizi

Baabano abasomesa abakozesezza ekiseera kyomuggalo okuzimba omutimbagano ogusomesa abayizi

ENSWA bwekyusa amaaso nga naawe okyusa envubo, enjogera eno egendera bulungi ku basomesa okuva mu masomero ag'enjawulo, abazimbye omukutu gwa Website gwebqatuumye http://www.prime-learn.com okusomesezaako abayizi okuva ku  pulayimale okutuuka ku univasite.

Bano bagamba nti batandise na masomo ga pulayimale, kati omukutu guno guliko vidiyo ezisukka mu 4,000 ezisomesa abayizi,  abasomesa abakugu okuva mu masomero ag'enjawulo okuli; Makindye Junior School, Golden Juniors School Kawaala, Victoria P/S Mutundwe, Global Junior School Busega , St Fancis Nyanama, MK P/S Kyotera n'amalala.

Bakutte sirabaasi nebagimenyamenya mu bitundutundu, ssomo ku ssomo nebakwata bu vidiyo obumpimpi obw'abasomesa nga basomesa abayizi nga bataddeko neby'okulabirako by'ebifaanayi ebinyuvu, ebiggyayo obulungi  omulamwa gw'ebyo byebasomesa.

Ku mukutu guno, abayizi buli Topic gye banaagendako baakugisasulira 700/- , awo omuyizi aba asobola okulaba vidiyo emirundi esatu ku ssente ezo, bwasussaamu aba addamu kusasula ssente ndala,  bwakyusa okugenda ku ssomo eddala era nalyo alisasulira bwatyo, buli ssomo lisomesebwa abasomesa basatu, omwana waddembe okulondako omusomesa gw'alaba nti yamusingira.

Betty Nakafeero omukwanaganya wa pulojekiti ya Prme-learn eno agamba;

Bwetwali mu muggalo gw'ekirwadde kya Covid-19,  twasooka kulowooza nti gugenda kukoma mangu,  bwewaayita omwewzi twatandika okulaba ng'ebintu bigenda bikaluba, buli musomesa weeyali nga tamanyi kiddako ate ng'obulamu bulina okutambula.

Bannaffe bangi baagenda mu byalo olw'embeera nga tebakyagisobola, waliwo mukama waffe Patrick Mukasa owa Victoria Mutundwe P/S yaleeta ekirowoozo nti, tubeeko kyetukola ku byenjigiriza tuleme kulinda ddi bwetuliddamu kusomesa mu bibiina, nga tetutunuulidde muggalo gwa kirwadde kya Covid-19 gwokka, wabula n'ebiseera byeby'enjigiriza eby'omumaso,  ng'omuyizi asobola okusomera ku mutimbagano wonna w'aba ali kasita aba ne kompyuta oba essimu ya smart phone, kwekuleeta ekirowoozo okuyzimba Website eno eya http://www.prime-learn.com, ne app ya Primelearn omuntu asoola okugiwanualayo mu google play store n'aba ng'asobola nokusomera wona waaba ali .

Twasooka netutunuulira abasomesa beetulaba baasomeseaa ku TV, ffe neetusalawo okwongeramu obukodyo n'obukugu, okwongera okusomesa omuyizi ategeere bulungi nga tali na musomesaawe.

Twatuula netumenyaamenya  syllabus yonna mu lessons ezisomeseka, ennyangu okuyiga nga tukwata bu vidiyo, ezo  buli mwana zaasobola okusoma,  buli vidiyo ya ddakiika ezitasukka 10.

Twafuna abakugu mu kukwata n'okutereeza ebifaananyi bya vidiyo, nebajja nebatusomesa okubikola netubikugukamu, mukama waffe yatugulira ebikozesebwa omwali;  kkamera, kompyuta za laptops,  netubeera nga ffe fenyini abasomesa ffe twekwatira vidiyo ezo ezisomesa ate nga ffe tuziteekateeka, kubanga omulimu ogwo ate bwetugukwasa omuntu omulala ayinza obutaggyaayo kinyusi, buli kimu kikolebwa ffe basomesa.

 Bwetwalaba kigezze, twayita abasomesa okuva mu masomero amalala amalungi okwetoloola ebitundu by'eggwanga eby'enjawulo, nebajja nebatwegattako netukwata lesson zino ku vidiyo n'obukugu obungi okuyamba abayizi okuyiga nga bwebanyumirwa ebibasomesebwa, nga tukozesesa olulimi olwangu lw'okuyiga.

Tutandise n'ebibiina okuva ku P.4- P.7 mu masomo gonna netukwata ebya taamu zonna essatu ez'omwaka guno gyeziri zaggwa dda nez'omwaka ogujja tutandise okuziteekayo.

Kino olukimaze tugenda kukwata ne vidiyo ezisomesa okuva wansi ku nassale  okutuukla ku P.3 nazo zigendeyo.

Lesson emu esomesebwa abasomesa basatu, singa omwana aba tayagadde musomesa ono asobola okunyiga mu musomesa omulala yenna gw'aba ayagadde okumusomesa.

Kuliko eby'okukola (tests), buli luvannyuma lwa vidiyo esomesa,  waliwo ebibuuzibwa byetuyise "lesson test", byawuddwaamu emirundi ebiri;  ekitundu ekisooka kyetuyise Part 1 eringa quiz , omwana abuuzibwa ekibuuzo ate ng'aweereddwa ansa ez'enjawulo naanyiga mu eyo gy'alowooza nti ye ntuufu, oluba okunyigamu bamugololerawo, bw'eba nfu nebakulaga nti nfu nebakulaga n'entuufu gyewandibadde olondako. Buli  bibuuzo ebyo bijjiddeko ansa zaabyo entuufu kweziri ku mutimbagano.

Ekitundu  eky'okubiri kyetuyise Part 2 tukiyise "the structured Questions", okoppololako ebibuuzo ebikubuuziddwa n'owandiika mu kitabo kyo ebbali, n'okola anasa zo,  bw'omala n'onyiga ku peesa eririko "library button" n'olaba ansa entuufu neweegolola, buli luvannyuma lwa lesson esomesebwa waliwo ka vidiyo akakujjukiza nti,  "ekiddaklo ye lesson test tosubwa okugikola".

Osobola okukozesa essimu oba kompyuta n'oteekako data okusobola okutuuka ku website eno , omwana asobola okusoma obudde bwonna w'aba ayagalidde okusoma.

Omukutu guno gwa kuyamba abayizi, abasomesa n'abazadde abaagala okwenyigira mu kusoma kw'abaana baabwe, abasomesa nabo baasobola okugweyambisa okwetegeka nga bagenda okusomesa nebaba bamanyi,  abayizi bw'aba tategedde bulungi bimusomeseddwa mu kibiina, asobola okugenda ku mukutu guno naagenda ku lesson eyo, naayongera okuyiga, omwana wa ddembe okulaba vidiyo emu emirundi emingi ekitali mu kibiina.

Vidiyo zino tuziteekayo mu mitendera okusinziira ku bibiina,  buli vidiyo ya lesson etuumiddwa erinnya lya lesson eyo okugeza; bw'oba oyagala kusoma ku mutima n'onyiga ku subject ya Science noogendayo osangayo vidiyo ku lessons ez'enjawulo nti; "human heart" P.6 n'oginyigamu.

Tuinako n'ekitundu omusomesa w'ayogererako n'abayizi  ku mutimbagano mu nkola ya zoom, ng'abaana bamubuuza ebibuuzo naye n'abaddamu.

Patrick Mukasa, omutandisi wa pulojekiti eno agamba;

Twatunuulira netugeerageranya ebiseera by'enjigiriza eby'omumaaso  gyebiraga, netulaba ng'omuyizi  ajja kwetaaga okusoma nga tali mu kibiina ate nga tali ku ssomero, wabula okusomera wonna w'aba ali.

Covid-19 atuyigirizza bingi, naffe kwekusalawo okutakula emitwe okuyiiya, wadde tusoose na kukwata vidiyo za pulayimale, omukutu guno gugenda kusomesa okuva ku nassale okutuuka okusoma gyekuggweera ku univasite, nkyali mu kukwasaganya abasomesa ba siniya n'amatendekero ga waggulu nabo bajje tukolere wamu.

Twafuna abakugu mu kuzimba website, abaatuyambyeko mu mulimu guno okulaba nga guba mulungi n'okuganyula abayizi baffe.

 App yaffe eya Prime learn kweri mu google play store, gy'ogenda n'ogiwanulayo (download) n'osobola  okufuna buli kimu,  oba okugenda ku mukutu gwa website ku; http://www.prime-learn.com , olondeko omutendera gw'oyagala; Primary, Secondary oba University, otandike okusoma.

Ku mukutu guno kuliko endagiriro y'okusasulirako ssente okusobola okufuna ebisomesebwa ebyo, osobola okusalira buli lesson, okusasulira omwezi, ttaamu oba omwaka okusinziira ku busobozi bwo, buli vidiyo erabibwa mirundi esatu ku ssente  700/- zeewasasudde, bwegisukkamu oba oddamu kusasula ndala, bw'omala okusasula nga yeeggula. Ssente z'osasulira ttaamu ennamba oba  okusingawo kijja kusinziira ku muwendo gwa vidiyo eziri mu lesson, topic oba term eyo.

Kuliko discussion group, abayizi bwebamala okusoma baasobola okugenda mu discussion group ku mutimbagano kwenyini nebakubaganya ebirowoozo ku ebyo byebasomyeko, eno yo siyakusasulira.

Omuggalo nagutwala ng'omukisa okulowooleza omulimu gwaffe ogw'obusomesa,  n'engeri y'okugugezza mu mbeera ng'eno, kuba okusoma kwo kulina okusigalawo, naakola okunoonyereza okwongera tekinologiya mu nsomesa era nzudde bingi nenjiga bingi.

Nsaba abayizi, abazadde n'abasomesa okwettaira enkola y'omutimbagano eno okusoma, kubanga tukozesezza abasomesa abakugu okukwata vidiyo zino netukozesa n'obukugu bw'okusomesa obw'enjawulo.

Nsaba ne gavumenti eyambeko abasomesa n'abayizi okuteekawo Data owa ssente entono baasobole okwettanira ensomesa eno, naye akyali wa bbeeyi nnene.

Ku mukutu kuliko akabonero ka  whatsapp k'olaba, omwana asobola okunyigamu naagenda butereevu ku namba ya whatsapp n'abuuza ekibuuzo kyonna ky'aba tategedde butereevu ku whatsasapp eyo nekimuddibwamu, kuliko  zoom, asobola okwogeraganya n'omusomesa gw'aba ayagadde.

Byonna byetutadde ku mutimbagano tugoberedde ennambika ya minisitule yeby'enjigiriza.

Okusomera ku mutimbagano lyekkubo kati

Dr John C. Muyingo, minisita omubeezi  oweby'enjigiriza bya waggulu mu ggwanga, agamba;

Enkola bweziti kati lye kkubo lyetugenda okukwata mu by'enjigiriza, abasomesa abo mbagadde nyo olw'obuyiiya obwo.

Eno gyetulaga,  wadde Covid-19  waali oba ng'aweddewo,  okusomera ku mutimbagano kwetugendako  okusinziira muwendo gw'abantu abeeyongera obungi buli lukya, ne tekinologiya akula enkya n'eggulo,  tetukyasobola kusomesa nga tukozesa enkola enkadde zokka,  buli kimu ekikwatagana n'okusomesesza ku mutimbagano tukiwagira kasita kigoberera amateeka, era naffe nga gavumenti tuli mu ntegeka okulaba engeri gyetukiyingiramu.

Obwetaavu bw'okukozesa data bulinnya enkya n'eggulo, ate akyali wa bbeeyi, ku nsonga eno , tulina kaweefube gwetuliko nga gavumenti  okulaba nti bbeeyi ekendeera, abantu bonna baasobole okumwetuusaako ku ssente entono ddala.

Abasomesa  kyebagamba

Maria Nante; Twali tutudde nga tetukola ate nga tetusasulwa kuba tusomesa mu masomero ga bwananyini, enkola eno etuyambye ate naffe okuzibukula obwongo n'okuyiga obukodyo obupya, tuyize okukwata vidiyo netuzitegeka bulungi, tuyize okukozesa obulungi kompyuta, bino byonna twali tetubimanyi,  kati tukuguse ate enkola tugirinamu essuubi ddene okuyamba ebyejigiriza by'eggwanga.

Vincent Obade; Tusuubira kino kyetukola kigenda kuyambako abaana  okwongera okunnyonyoka byebasoma, ky'aba tategedde asobola okujja nakinoonyako naayongera okukitegeera, n'omusomesa naye yeetaaga okusooka naayitako ku Primelearn  naalaba ku lesson gy'agenda okusomesaako naasobola okwetegeka obulungi, ate naffe abasomesa twesunze kubanga enkola eno egenda kwongera ku nnyingiza yaffe era tusaba abantu, abayizi n'abasomesa okugyettanira kubanga nnungi.

 Obulwadde bwa senyiga ono omukambwe butulaze era nebutuyigiriza nti okusoma ssi kwa mukibiina kyokka n'awatali musomesa tusobola okusoma kuba kati ensi.

David Coliins seguya, eyazimbye website eno nga nzaalwa y'e ggwanga lya America agambye nti;

Enkola eno Ekoze kya maanyi okutumbula eby'enjigiriza n'addala mu mawanga agaakula edda nga America gyazaalwa. Biyambye nyo eby'enjigiriza okukula n'ategeeza nti, singa ne wano  enaakozesebwa obulungi yaakuyamba nyo okusitula eby'enjigiriza by'eggwanga.

Edwin Twinomujuni;  Okusinziira ku tekinologye aliwo naffe abasomesa twetaaga okukyusa enkola tudde ku tekinologye kuba kati ensi eddukira ku misinde gya waggulu era eno gyetulaga kati, nkubiriza abazadde baffe okufaayo okwettanira tekinologye ono eri abaana baabwe kubanga kati ensi gyeraga y'eyo.

Lessons zino ziyambako okuliikiriza abaana, okwongera ku ebyo ebibasomesebwa mu kibiina nebannyikiza n'okutegeera obulungi, omwana nebwataba mu kibiina asigala asoma.

Sarah Nabagesera; Twasalawo naffe tukyuse enkola tuleme kuva mu mulimu gwa busomesa, tutambulire n'ensi nga bwetambula,  tuyize bingi, netwongera omutindo ku kusomesa, kati okusoma kusobola okutuuka ku muyizi wonna w'aba ali wadde tali ku ssomero,  ekyo PrimeLearn ekireese kati weekiri. Ng'oggyeko okusomesa, ate njize bingi ebirala ebikwatagana ku tekinologiya, njize obukodyo bwa kompyuta bungi obusobola okunnyambako okukola ebirala.

Gerald kayongo, Enkola eno etuyambye okwongera ku bukugu bwaffe ng'abasomesa,  okwekuuumira ku mutindo mu kusomesa obutasigalira mabega, kati tuvudde ku kusomesa kw'okulubaawo, kati  buli mwana waali asobola okusoma, tekinologiya ono agenda kuyamba kinene, tugirinamu essuubi.

Abazadde kyebagamba

Hanifer Namakula; enkola eno nnungi kubanga omwana agenda kusigala ng'asoma ng'ali mu luwummula, abaana  bamaze ekiseera kitono ku ssomero ate ga bakyalina bingi eby'okusoma, enkola egenda kutuyambako abaana baffe okusigala nga basoma awaka mu luwummula, kinsanyusizza nti abobola okwogeraganya n'abasomesa baabwe ng'ali ku mutimbagano.

Benitah Nanziri; Enkola eno ejja kutuyamba nnungi, kuba ne ssente  zetusasulayo ntono  zisoboka,  bu video bukwatiddwa bulungi ssi bunene nyo, buliko eby'okulabirako ebirungi ebiri mu bifananyi ng'omwana akirabikao ddala okusinga ng'ali mu kibiina, zisikiriza abaana okusoma, njagadde.

Susan Bajenja; enkola eno egenda kutuyambako ffe nga'abazadde kuba abaana nabo bagyagadde, engeri abasomesa gyebasomesaamu nnungi, tebapakuka bagenda mpolampola omwana n'asobola okuwulira obulungi ate n'olulimi bakozesa lwangu abaana bonna lwebasobola okutegeera n'okuwulira obulungi. Ekizibu kya bazadde abamu abatalina smart phones ne mu byalo network gyetatuuka.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts