Thursday, January 7, 2021

Enkalu mu kalulu ka Lubaga North

Enkalu mu kalulu ka Lubaga North

NG'EBULA wiiki emu okutuuka ku kulonda kwa bonna, ebbugumu lyeyongedde mu Lubaga North wakati wa minisita w'ebyettaka Beti Kamya, sipiika wa KCCA Abubaker Kawalya ne Moses Kasibante nga buli omu awera okuwangula ekifo kino.

Abeesimbyewo mu Lubaga North bali 7; Beti Kamya Turwomwe (NRM), Moses Kasibante (talina kibiina), Arafaati Sulaiman Kasule (FDC), Abubaker Kawalya (NUP), Francis Kizito (DP), Nicholas Ssemayobe (talina kibiina) ne Brian Kusingura Tindyebwa (talina kibiina).

Kyokka okunoonyereza Bukedde kw'akoze kulaga nti okuvuganya okw'amaanyi kuli wakati wa Kawalya, Kamya ne Kasibante era ng'enkambi ya buli omu ewera nti obuwanguzi bwayo.

Lubaga North erimu emiruka etaano okuli Kasubi nga gulimu abalonzi 41,553 era muno
Kawalya mw'asula, Lubya mulimu abalonzi 47,891 nga muno Kasibante mw'asula, Lungujja mulimu abalonzi 15,890 nga muno Kamya mw'asula, Nakulabye mulimu abalonzi 19,000 ne Namirembe Bakuli abalonzi bali 41,266 ng'essaawa eno kizibu okusalawo ani asinza munne abalonzi olw'ensonga nti bonna abasatu buli omu alina ekimuwa enkizo ku banne.

BULI OMU N'AMAANNYI GE WE GALI
KAWALYA: Abadde yeetunze nnyo mu bantu ng'ayita mu nkola y'okutambula muntu ku muntu ng'amumatiza. Okusinziira ku bavubuka ba bodaboda ku siteegi y'e Nakulabye ne Kasubi, Kawalya ekimufudde ow'enkizo atuuka kumpi ku buli muntu ate nga mwangu waakutuukako.

Katugambe oli ng'alwazizza oba afi iriddwa, n'amutegeeza Kawalya asobola okumuyamba ng'omuntu ne bwe ziba 500,000/- azimuwa.

Amaanyi ga manvuuli n'omuyaga gwa NUP mu bavubuka kimuwa enkizo. Balaba nti
omukulembeze waabwe addako ye Kyagulanyi ate Kawalya alabikidde nnyo ku lusegere lwe.

                            Abeesimbyewo E Lubaga 1

Ekimu ku bintu ebyasinga okutunda Kawalya mu bitundu bya Lubaga naddala Kawaala, Kasubi, Namungoona ne Nakulabye, byabimizannyo by'azze yeenyigiramu ng'ategeka empaka z'emipiira, ludo n'emizannyo emirala.

Bw'otunuulira ababaka ba palamenti abazze bakiikirira Lubaga North okuviira ddala mu CA, babadde bava mu bitundu bya Upper Lubaga North, omuli Lubya ne Lungujja nga aba Kasubi, Kawaala, Nakulabye bakola gwa kuwagira.

Kyokka ku mulundi guno wavuddeyo omuntu ow'amaanyi era okusinziira ku batuuze b'omu bitundu bino, guno gwe mulundi n'oludda olwa Lower Lubaga North okuvaamu omubaka.

Kawalya abadde sipiika wa KCCA, nga kiwa abalonzi essuubi nti asobola okubaweereza ne mu palamenti. Kawalya mupya mu lwokaano, ng'abalina endowooza ya tukyuseemu bamutunuulidde.

KASIBANTE: Alina abantu ssekinnoomu abamufi irako, okusinziira mu bakyala abatundira ebintu mu Nabulagala, Mapeera ne Nakulabye mu katale. Bagamba
nti aliko abantu b'azze awa ssente z'okwekulaakulanya mu bibiina nga bakkiriza nti akyasobola okubeera omubaka waabwe.

Abeesimbyewo E Lubaga.

Abadde ayiwawo nnyo omubiri ku nsonga z'obutale, alina n'ekibiina ky'obwegassi ekimufuula ow'enkizo ku banne.

Alina entalo z'ettaka ly'amasomero z'alwanye. Okusinziira ku bazadde abalina abaana ku masomero okuli Namungoona Kigobe, Kasubi Family (Nakyekoledde) ne Kitebi P/S, yali musaale okulemesa abaali baagala okubba ettaka ly'amasomero n'okwagala okugamenya.

Abadde muteesa mulungi mu palamenti ng'alabikira ku lukalala lw'ababaka abasinze okuteesa. Alina obuwagizi bwa bannaDP, wadde ng'abadde alaga n'okukyogera nti yava mu DP naye waliwo abawagizi ba DP nga mu Kasubi zooni lV, Namungoona ku Luyinja, Masanafu - Lugala abakikkiriza nti Kasibante akyali waabwe kubanga bamumanyi nti takyukakyuka nga yakiragira ne mu nsonga za Togikwatako
ne ku musolo gwa OTT. Alina amaanyi g'ekkanisa e Namirembe n'Obwakabaka.

BETI KAMYA:
Alina omukululo gwe yaleka ng'omubaka w'ekitundu kino. Abakyala mu bitundu bya Lungujja - Kitunzi, Namirembe Bakuli, Kasubi, Munaku ne Nakulabye balina ebintu bye baafuna okuva eri Beti Kamya mu kiseera we yabeerera omubaka w'ekitundu.

Okuwa abantu looni mu SACCO gye yatandika eya Lunda SACCO, gattako okuwagira ebibiina by'abakyala ng'ekyaliwo n'essaawa eno.

Mu bitundu ebimu yakazibwako n'erinnya lya ‘Maama Lubaga'. Alina by'akoze ebirabikako.

Mu myaka etaano gy'amaze nga minisita, azimbye enguudo era okusinziira ku bantu b'e Lungujja mu Kitunzi, okulondebwa kwe kwabawonya enfuufu mu kitundu.

Yeenyigidde mu kutumbula ebyenjigiriza. Alina abazadde b'akwatizaako okuweerera
abaana, era okusinziira ku bakyala abeerabiririra abaana baabwe (single mothers), bangi balina essuubi nti bwe bamulonda ku ky'obubaka ajja kubaweereza bulungi.

Abakyala mu Kosovo bagamba nti basobodde okutandikawo emirimu nga bakozesa ssente z'abawola okwo gattako abavubuka ba bodabooda be yawa ppikippiki ku kibanja mpola.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts