
Kitalo! Fuso eremeredde omugoba waayo n'esaabala abantu, nga mu ku bano ategeerekeseeko nga Medi Ssekyanzi abadde atambulira ku bodaboda afiiriddewo era omulambo gwe gutwaliddwa mu ggwanika e Mulago.
Akabenje kano kaguddewo mu ttuntu lya leero ku luguudo lw'e Mityana okuliraana n'essundiro lya mafuta erya Shell e Bulenga.
Ababaddewo ng'akabenje kano kagwaawo bagamba nti kavudde ku mugoba wa fuso ebadde ettise emiti bw'egaanye okusiba n'etomera emmotoka ekika kya V8.