Abantu abagambibwa okuba abooludda oluvuganya Gavumenti nga bayita ku mutimbagano gwa yintaneeti batandise okulumba baminisita mu Gavumenti ya Museveni.
Omu kw'abo abasinze okusimbibwamu olunwe ye Minisita w'abakozi n'ekikula ky'abantu, ng'ono bamulanga kuba muganzi ate nga muvumu mu kuggusa ensonga za NRM n'ebyo ebituukiddwaako Gavumenti ya NRM.
Tumwebaze muganzi mu kitundu gy'akiikirira e Kabaale era abamusojja ku mikutu gya yintaneeti bamulanga kuba yayitamu nga tavuganyiziddwa so nga n'ebbanga ly'amaze ng'avuganya ku ky'omubaka wa Palamenti abadde awangulira waggulu ku bitundu 82 ku 100.
Tumwebaze ng'olese abooludda oluvuganya gavumenti okumusojja kigambibwa waliwo n'aba NRM abamuliira munda nga bamulanga kubasukkulumako.
Bagamba nti buli lwe wabaawo enteekateeka z'okukyusa kabineeti Tumwebaze aba asuubirwa okufuna ogufo olw'obusobozi bwe era bagamba nti ne bwe yava mu Minisitule ya ICT, Pulezidenti Museveni yasigala amwesigisa emirimu egigwa mu kkowe eryo era lumu Pulezidenti yamwesiga amukiikirire mu lukung'aana lw'okumutimbagano olwa SMART Africa olwali lutegekeddwa Pulezidenti wa Rwanda, Paul Kagame.
Olukung'aana lwali luteekeddwa kwetabwamu bakulembezi b'amawanga wamu ne bakatikkiro b'amawanga g'omu East Afrika.
Bagamba nti kino kyanyiiza nnyo abawalana Tumwebaze nga balowooza obolyowa bateekateeka kumuzza mu minisitule ya ICT, emu kw'ezo ezisinga enkizo mu ggwanga kabekasinge minisitule y'ensonga z'ebweru.
Bano era bategeezezza nti na'abaana ba Minisita tebannafulumizibwa wabweru wa ggwanga ng'abatamwagaliza bwe babadde batandise okubityebeka. Abaana be bonna basomedde mu Kampala Parents School era n'abo abakyasoma gye basomera wamu n'amasomero ga Uganda amalala.