Omwaka oguwedde ‘She Cranes' ttiimu y'eggwanga ey'okubaka bwe yali egenda okulwanira okweddiza ekikopo ky'Afrika, ekibiina ekiddukanya omuzannyo (UNF) ky'asalako abazannyi 9 ng'abataano ku bano be baali mu World Cup e Liverpool ekya Bungereza, olw'ensonga ezaali zeekuusa ku mpisa embi, obuvune n'omutindo ogw'ekiboggwe.
Ebadde esuubirwa okwetaba mu nzannya ez'omukwano ez'ekikopo kya International Diamond Challenge Cup wakati wa January 20-27, 2021, wabula Uganda yatidde okutwala abazannyi e South Africa olw'ekirwadde kya ssennyiga omukambwe okweyongera mu nsi yonna.
Anek agamba nti ssinga embeera ya Covid-19 teyongera kusajjuka, baamaze dda okukkiriziganya ne South Africa empaka zino zizannyibwe mu March era n'ategeeza ng'abazannyi baakiwagi bwe batagenda kuddira ddala ku ttiimu ate n'alabula ne mikwano gy'aba Kiwagi nti beegendereze.
"Ttiimu gye twali nayo mu ky'Afrika e South Afrika gye tusuubira okutambula nayo omwaka guno, wabula ab'empisa embi tugenda kubasikiza ebitone ebito,"Anek bwe yategeezezza.
Agattako nti b'atuuse ku nzikiriziganya ne South Africa, yaakubasasulira ez'okwekebezamu ez'okwekebeza nga batuuse e Cairo wabula balina okunoonya ssente z'okwekebereza wano nga tebannasitula kugenda.
"Mu kiseera kino abazannyi ba ‘She Cranes' batendekerwa mu maka gaabwe wansi w'ebiragiro bya UNF, era tusuubira omwaka ogw'enkyukakyuka enenne," Anek bwe yayongeddeko.
Uganda ekwata ekifo kya 7 mu nsi yonna ate mu Afrika yaakusatu emabega wa South Africa ne Malawi.