Tuesday, January 19, 2021

Enkwe za bamanisita ze ziwanguzza Museveni mu Buganda- Kakooza Mutale

Enkwe za bamanisita ze ziwanguzza Museveni mu Buganda- Kakooza Mutale

MAJ. Kakooza Mutale awabudde Pulezidenti Museveni ku nsonga ezaamuwanguzza mu Buganda n'awakanya abakissa ku busosoze mu mawanga.

Kakooza Mutale ayogeddeko ne bannamawulire enkya ya leero mu Kampala n'atabukira baminisita abava mu Buganda olw'enkwe ezibajudde n'agamba nti Pulezidenti tebamubuulira mazima olw'okwagala okumubbako ssente.

Kakooza Mutale Ng'annyonnyola.

Kakooza Mutale Mu Offiisi Ye.

Mutale agamba nti bangi ku baminisita ba Museveni abaagudde babadde baava dda ku mulamwa ogw'okukolerera ekibiina kya NRM okugenda mu maaso wabula nga bakkusa mbuto zaabwe ne batuuka n'okwerabira abalonzi baabwe.

Mutale agambye nti abantu mu kulonda kuno tebaalonze kusinziira ku mawanga wabula baalonze abo be balowooza nti banaabokolera ku bizibu byabwe kubanga baminisita tebabayambye kubatuusiza ddoboozi lyabwe wa Pulezidenti ekibaleetera okulowooza nti Pulezidenti Museveni asanyukira nnyo ebyo ebibanyigiriza.

Mutale yanokoddeyo embeera y'obwavu mu bantu naddala mu Buganda, ebyobulamu ng'ebitafiiriddwaakoko n'ebbula ly'emirimu mu bavubuka by'agamba nti bye byanyiizizza abantu obutalonda Museveni naye si busosoze.

Wabula Mutale aliko ne baminisita b'alumiriza okulwanyisa Gavumenti ya NRM nga bassa ssente mu booludda oluvuganya okulaga obunafu bwa Pulezidenti Museveni nga bw'atakoledde Bannayuganda kyokka n'asanyukira eky'abantu okubasuula mu kalulu era n'awa Pulezidenti Museveni amagezi okukola ku bizibu ebiruma abantu okusinga okwesiba ku baminisita abamusiiga enziro mu bantu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts