Tuesday, January 19, 2021

Balumirizza Cameroon eddogo

Balumirizza Cameroon eddogo

Ng'omupiira oguggulawo tegunnatandika, akawundo akafu kaasangiddwa mu kisaawe wakati, ekyatiisizza abawagizi, abazannyi n'abatendesi ba Zimbabwe nga bagamba nti Cameroon yakozesezza ebyawongo ebaloge.

Logarusic yakubye akawundo kano ebifaananyi n'akasaasaanya ku mikutu egy'enjawulo nga bw'elangira Cameroon nti basusse obulogo. Ng'omupiira gutandise, Zimbabwe yafubye okunyigiriza bannyinimu kyokka ggoolo ne zigaana era mu ddakiika y'e 18, Cameroon n'eteeba era eno ye ggoolo eyabawadde obuwanguzi.

Kino kyalese omutendesi Logarusic nga yeekubagiza nga bw'agamba nti singa teryabadde ddogo lya Cameroon, osanga bandibadde bawangula.

Mu AFCON ya 2002, Cameroon baagirumiriza okukola eddogo bwe baali bagenda okuttunka ne Mali ku semi.

Wabula waliwo abalumbye Zimbabwe nti ekaabira bwereere kuba abazannyi baayo tebaabadde ffiiti. Liigi ya Zimbabwe ebadde emaze emyezi mwenda nga tezannyibwa olwa corona.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts