Yanokoddeyo nti, bwe yali minisita w'ebyobulimi n'obulunzi, yafuba okufuula ebyobulimi eky'obusuubuzi era ng'obukugu bwabadde nabwo obw'enjawulo abukozesezza n'asukkuluma mu buli kye yakwatako engalo omuli n'okusitula abantu mu by'enjigiriza, ebyobufuzi n'ebyobusuubuzi.
Museveni era yategeezezza nti Kisamba Mugerwa abadde kya kulabirako mu bukulembeze obulengera ewala bwalaze nti kisoboka omuntu okutuuyana n'atuuka ku birungi nga tayise mu kukumpanya n'okwagala eby'amangu n'asaba abavubuka abaagala eby'amangu okumulabirako.
Bino byabadde mu bubaka bwe obwasomeddwa minisita avunaanyizibwa ku matendekero aga waggulu, Dr. JC Muyingo mu kuziika omugenzi ku kyalo Kikonda mu ggombolola y'e Bamunaanika mu Luweero.
Ssaabalabirizi Steven Kazimba Mugalu yategeezezza nti omugenzi Kisamba agasizza ekitundu gy'ava, ekkanisa n'eggwanga n'asaba abayivu n'abalina ensimbi okumulabirako baleme kwegasa bokka.
Omulabirizi wa Luweero, Eridard Kironde Nsubuga yategeezezza nti omugenzi Kisamba Mugerwa abadde mukozi, omuyivu, ayagala Katonda n'azimba amasinzizo ag'enzikiriza ez'enjawulo era atatya kwogera kimuli ku mutima ne kimuyamba obutabeera munnanfuusi.
Omusumba w'essaza lya Kasana Luweero, Paul Semwogerere yasiimye omugenzi olw'obutabba bya bugagga bya ggwanga kwegaggawaza n'okukubiriza abantu okwekolera ng'ayita mu kubajerega ne balowooza nti abaduulira.
COVID 19 MUMWEGENDEREZE
Omugenzi baagambye nti yafudde Covid 19 era omulambo gwe gwatuuse ku ssaawa ya kuziika ne gutwalibwa butereevu ku ntaana wakati mu miranga n'okwaziirana era abakulembeze baasabye abantu okukwata amateeka g'ebyobulamu.