Bya DICKSON KULUMBA KATIKKIRO
Charles Peter Mayiga awadde amagezi ebitongole ebikuumaddembe okukozesa obukugu mu kulonda, eggwanga lireme kuddamu kufiirwa bantu nga bwe kibadde mu kuwenja obululu.
Bino yabyogeredde mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yakubye e Bulange-Mmengo ku Lwokusatu n'asaba poliisi n'amagye okumanya nti bakolera Bannayuganda bonna. "Tusaba abeebyokwerinda bwe baba bakwasisa amateeka n'ebiragiro bakozese bukugu so si bukambwe. Abakuumaddembe oluusi mu kukola emirimu balowooza nti obukambwe bwe balina okwolesa so ng'ate Omuganda agamba nti amaanyi tegalya, embazzi tewaata."
Yayongeddeko n'abuuza nti, Omuntu bw'akola ebimenya amateeka buli mulundi ateekeddwa kukubwa masasi? Oba buli mulundi amasasi gateekeddwa kutulika? Tewali ngeri ndala yonna efunza bamenyi b'amateeka nga tebakubiddwa masasi oba miggo?
Yasabye poliisi n'amagye okukola emirimu gyabwe mu bwesimbu nga tebaawula muntu kibiina ky'awagira mu kukwasisa amateeka n'agamba nti eggwanga lifiiriddwa abantu bangi mu kiseera ky'akalulu k'omulundi guno noolwekyo tekyetaagisa kuddamu kufiirwa balala ate nga n'abalala bangi bali mu makomera.
Akakiiko k'ebyokulonda Mayiga yakawadde amagezi okutegeka akalulu ak'amazima n'obwenkanya nga tebyogerwako bwogerwa wabula birabika kubanga abantu balina obusobozi obulaba akola obwenkanya n'atabukola!
"Mu Afrika ekisinga okuleeta emirerembe ng'okulonda kuwedde bwe bukiiko bw'ebyokulonda, abantu baba tebabulabamu mazima n'obwenkanya. Akalulu bwe kakubwa awalonderwa kabalwe nga ba ajenti b'abeesimbyewo weebali, empapula bazikube ebifaananyi ensi ebimanye," Mayiga bwe yagasseeko.
Ebirumira kkooti by'ezze enokolayo mu kulonda okw'emirundi egiwedde, Katikkiro Mayiga yasabye akakiiko kalabe nga tebiddamu ng'okutuusa ekikeerezi ebikozesebwa mu kulonda mu bifo ebitali bimu. Yasabye poliisi n'amagye okussa ekitiibwa mu bannamawulire era babawe ekyanya okukola emirimu gyabwe kyokka ne bannamawulire n'abasaba okukola emirimu gyabwe mu ngeri ey'ekikugu.
Abalonzi yabawadde amagezi okulya ssente z'abo ababeera babagulirira wabula balonde abakulembeze be balaba nga be banaakola ku nsonga zaabwe ezibanyiga. Yabasabye okugenda mu bungi okulonda, okukuuma emirembe ate n'okuba abakkakkamu nga bakimanyi nti ku beesimbyewo 11, omu y'agenda okuwangula.