
Bya JOSEPH MAKUMBI
ne ISMAEL KASOOHA
ENTEEKATEEKA z'okuziika Owobushobozi Bisaka ziri mu ggiya. Omulambo gwe okuva e Nairobi gwaleeteddwa mu nnyonyi nnamunkanga y'amagye ga UPDF okutuuka mu lubiri lwe mu Hoima.
Bisaka tabadde munnaddiini waabulijjo. Abadde mugagga ddala ng'alina n'abakyala bana b'azaddemu n'abaana 10.

Bisaka we yafiiridde ng'ebyobugagga bye bingi tebimanyiddwa wabula ng'alina ebyapa by'ettaka 1,230. Ebyapa bino kwe kubadde kutudde ebizimbe ebya bizinensi, embiri n'ebizimbe by'amasinzizo g'enzikirizaye eya Unity of faith Movement.
Amasinzizo ga Bisaka ge baatuuma Itambiro, gali mu mawanga okuli Uganda, Rwanda, Tanzania ne Burundi nga buli ggwanga essinzizo litudde ku ttaka n'ekyapa ekiri mu mannya ga Bisaka. Amasinzizo 1,000 gali mu Uganda era ebyo by'ebyapa 1,000. Alina ebizimbe bya bizinensi mu Bunyoro naddala mu tawuni e Kagadi ng'ekimu kibalirirwamu obuwumbi 10.
YALESE ALAAMYE KUMUKAZA
Bisaka yalese alaamye omulambo gwe bagukaze buli mugoberezi anaagenda ng'okusaba agulabeko ng'ekijjukizo. Kyokka wabaddewo okutya engeri gye banaakaza omulambo gw'omuntu eyafudde corona. Kyabadde tekinnakkaanyizibwako oba abeebyobulamu bannakkiriza okukaza omulambo guno yadde mu Gavumenti mulimu amaloboozi agakkaanya n'okugukaza okusinziira ku bali mu nteekateeka y'okuziika/okutereka omulambo guno.
Abawagira eky'okukaza omulambo gwa Owobushobozi bagamba nti yadde mukama waabwe anaaba awummudde, abaagala emikisa, okubagobako endwadde n'ebyoko0la, baakufukamira nga wansi w'endabirwamu omuli omulambo gwe basabe bye baagala era abagoberezi baabamatizza nti, buli kye baanasaba kijja kutuukirira.
Abakulira enzikiriza ya Unity of Faith Movement baategeezezza nti, omulambo gwa Bisaka bagenda kugukaza bagutereke mu kifo abagoberezi we basobola okugulabira. Baagambye nti, tagenda kuziikibwa ng'abantu abalala era akulira eby'amawulire Omukwenda Turyamureeba yagambye nti kino baakikoze okusigaza ebyafaayo ku mutandisi w'enzikiriza yaabwe.
Omulambo gwa Bisaka gwakomezeddwaawo mu ggwanga eggulo okuva e Nairobi mu Kenya mu ddwaaliro lya Agha Khan gye yafiiridde nga January 14, 2020. Bisaka kigambibwa nti, yatwalibwa ne bakyala be bana e Kenya oluvannyuma lw'okusooka okujjanjabirwa e Nakasero obulwadde ne bugaana. Kigambibwa nti, yafudde Corona.
Okuva ku kisaawe e Ntebe we gwatuukidde, gwateekeddwa mu nnyonyi y'amagye ne gutwalibwa e Kapyemi abakulira enzikiriza n'aba ffamire gye baabadde bagulindidde.
GAVUMENTI Y'EGENDA OKUKOLA KU BY'OKUZIIKA
Oluvannyuma lw'abakulira enzikiriza ya Bisaka ne ffamire okufulumya ekiwandiiko ekyateekeddwaako emikono ogwa Mukwenda Mitooro mutabani wa Bisaka ne Mukwenda Mugisa akulira akakiiko akawabuzi nga bakakasa okufa kwa mukama waabwe ku Lwomukaaga, enteekateeka z'okuziika zaayongeddwamu amaanyi.
Katikkiro wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda, yafulumizza ekiwandiiko n'ategeeza nti, baatudde mu lukiiko n'aba ffamire ya Bisaka n'abamu ku bakulembeze b'enzikiriza ye ku Lwokutaano nga January 22 ne bakkiriziganya nti, aterekebwe nga January 31.
Kino, kitegeeza nti, Bisaka wa kumala ku nsi nga tannakazibwa kuterekebwa ennaku 17.
Rugunda yagambye nti, Pulezidenti Museveni yabadde ategedde ku mawulire g'okufa kwa Bisaka era akungubagira wamu n'aba ffamire n'agamba nti, Gavumenti yasazeewo okukola ku nteekateeka z'okutereka omulambo gwa Bisaka.
Wabula, okutuuka ku kigenda okukolebwa ku mulambo, ensonda zigamba waabaddewo okusika omuguwa wakati w'aba ffamire, ab'enzikiriza n'abakungu ba Gavumenti abaabadde bagamba nti, tebayinza kukkiriza mulambo gwa muntu afudde bulwadde bwa corona kuterekebwa nga buli ayagadde asobola okumulabako.
Mu bbaluwa ya Katikkiro, yagambye nti, Pulezidenti Museveni yasabye abagoberezi n'aba ffamire okwerinda obulwadde bwa corona nga basiibula omuntu waabwe ate n'abakuutira okubeera abagumu.
Ensonda mu nzikiriza ya Owobusobozi e Kapyemi Muhorro mu disitulikiti y'e Kagadi zaategeezezza nti, Bisaka abadde muwagizi wa Museveni lukulwe era yakoze kinene nnyo okukunga abagoberezi be okuwagira Museveni mu kalulu akaakaggwa.
"Lwakuba waliwo obulwadde bwa corona, naye Pulezidenti yandibadde abeerawo ne mu kuziika mukwano gwe, babadde ba mukwano ffa nfe era yakoze kinene nnyo mu buwanguzi bwe." Ensonda e Kapyemi bwe zaategeezezza. Zagasseeko nti, gavumenti okusalawo okukola ku by'okumusiibula byonna, y'engeri yokka gye yabadde asobola okusiimibwa.
Bisaka wadde abadde yeeyita ‘katonda' abadde akimanyi nti olunaku lulikya n'ava mu bulamu bw'ensi.
Mu kitabo kye ‘The Book of God of the Age of Oneness' yategeeza nti, abantu abaatandika enzikiriza endala zonna mu nsi baafa dda naye ezikiriza ne zisigala nga zikyagenda mu maaso era n'eyiye bw'alivaawo, ejja kusigalawo.
Omu ku baddukanya enzikiriza yagambye nti, Bisaka yalese akoze enteekateeka etwala enzikiriza mu maaso. Yagambye nti, baalonze Omukwenda Arinaitwe okutwala enzikiriza mu maaso ate buli Itambiro okwetooloola eggwanga n'ebweru wa Uganda, waliyo Omukwenda alikulira era abagenda okusigala nga batwala enzikiriza mu maaso.
OBUWEEREZA YABUTANDIKIRA MU KLEZIA
Owobushobozi Bisaka yasookera mu Klezia nga tannatandika nzikiriza ya Unity of Faith Movement.
Abamumanyi bagamba nti, kitaawe azaala jjajjaawe, Petero Muhiigi omu ku basooka okuyingira eddiini nga yaakaleetebwa mu Uganda. Muhiigi ye yazaala Alifonsio Wenkere jjajja wa Bisaka.
Kitaawe ye yali Petero Byombi. Byombi, yali musomesa wa ddiini mu Klezia okumala emyaka 58.
Bisaka yazaalibwa June 11, 1930 ku kyalo Kitoma Kiboizi mu kigo ky'e Bujuni kitaawe gye yali yasindikibwa ng'omusomesa w'eddiini.
Bwe yali aweza emyaka nga munaana, kigambibwa nti, yasindikibwa ewa jjajjaawe Wenkere. Wenkere naye yali musomesa wa diini era omu ku baatandika ekigo ky'e Bujuni. Wenkere yali yawasa Martha Nyakake omu ku baalaba ng'abajulizi bakwatibwa mu kiseera kye yamala mu Lubiri e Mmengo gye baali baamusibira.
Bisaka ku myaka emito, yakula asomesebwa obulungi bwa Katonda n'enzikiriza y'Obukatoliki kuno kwe yagatta n'okulunda ente za jjajjaawe. Oluvannyuma yatwalibwa mu ssomero lya Mugalike era eno, yayagala nnyo okubeera ffaaza olw'engeri bajjajja be gye baamusomesa eddiini wabula ne kitasoboka era yavaayo mu 1944 ng'afuuse musomesa.
Omwoyo gw'okuwereza Klezia tegwamuggwaamu wadde teyasobola kufuuka ffaaza, yonna gye yasindikibwa okusomesa, yagattangako omulimu gw'okuyimbisa mu kkwaaya za Klezia era omulimu guno yagukola okumala emyaka 35.
Emirimu gya Klezia emirala gye yakola kuliko ogw'obuwandiisi bw'ekigo, ogw'omuwabuzi w'eggye lya Bikira Maria ate oluvannyuma yalondebwa ku bwassentebe bw'olukiiko oluddukkanya ekigo ky'e Muhoro.
Mu 1966, Bisaka yatandika okuyiiya ennyimba n'okuwandiika ebitabo era mu 1975, yayiiya oluyimba ‘Kaikiriza Ruhanga Murungi' olutegeeza nti, Nzikiriza Katonda Mulungi olwakyusa obulamu bwe.
Kigambibwa nti, buli lwe lwayimbibwa nga, yafunanga amaanyi ag'enjawulo n'eddoboozi erimugamba nti, ‘Ojja kuwonya abantu n'omukono gwo' era nga February 22, 1980, kigambibwa nti, yakola ekyamagero ekisooka bwe yakwata ku muntu eyali amanyiddwa nga Mitooro n'awona.
YEEYONGERA AMAANYI
Ebbanga eryaddirira, kigambibwa nti, Bisaka yagenda yeeyongera amaanyi n'okuwonya abantu n'atuuka n'okugoba abasezi n'abalogo abaali baazingako disitulikiti y'e Kagadi nga baazingamya n'enkulakulana.
John Mzee omutuuze ku kyalo Kenga mu Kagadi yagambye nti, Bisaka yawonya abantu ab'emitima emibi n'akubiriza n'abagoberezi be okukola ennyo.