
Muhamad Nsubuga owa NUP eyakwatibwa gye buvuddeko n'atwalibwa mu kkomera e Kitalya awangudde obwa kansala.
Bazadde be bagumizza abatuuze nti wadde mutabani waabwe ali mu kkomera bagenda kuweereza ekitundu emirimu mutabani waabwe gye yandibadde akola okutuusa ng'avudde mu kkomera. (Ebif. Bya Moses Lemisa).

Nsubuga yakwatibwa ku misango gy'okusangibwa ne magaziini z'emmundu ezaasangibwa mu kasasiro eyali okumpi n'omulyango gwe nga kino abazadde n'abatuuze baakiwakanmya nga bagamba abaserikale baapanga bipange.

Nsubuga abadde avuganya n'abantu 11 okuli Salasi Kyobe Independent , Abasi Kibe , Noah Mukwaya n'abalala. Abawagizi olwategedde nti awangudde ne bagenda mu maka ga bazadde okubalisa n'okutema ddansi.

Moses Mutebi Konkomebbi, kitaawe wa Nsubuga yategeezezza nti ffamire ye ewagira NRM kyokka Nsubuga yabavaako n'agenda mu NUP bbo kye bataalinako buzibu.