Bya PONSIANO NSIMBI
GAVUMENTI yakwewoola obukadde bwa Doola 31.64 okuva mu African Development Fund okuziba emiwaatwa mu byenfuna egyaletebwa ekirwadde kya Corona.
Bino byayogeddwa minisita w'ebyamawulire ne tekinologiya Judith Nabakooba mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza mu offiisi ye mu Kampala.
Nabakooba yateegezezza nti ssente zino zigenda kweyambisibwa okwongera ku bungi bw'ebifo we bakeberera abantu abateeberezebwa okuba n'obulwadde bwa COVID 19, okugula ebikozesebwa mu kukebera n'okujjanjaba abakoseddwa ekirwadde kino.
Okuteekawo obusenge n'ebitanda 140, awajjanjabirwa abalwadde abaayi (ICU), okuzimba amalwaliro 14 amanene, okwongera amaanyi n'ebikozesebwa mu bifo omukung'aanira abantu abangi okuli ensalo ne mu kisaawe ky'ennyonyi e Ntebe nga baakukulembeza eky'okwongera ku muwendo gw'ebikozesebwa.
Kabinenti era yalambise enkola egenda okuyitibwamu okusobozesa abayizi okugenda mu maaso n'okusoma, okuyamba abantu abateesobola n'abalina bu bizinensi obutonotono okusigala nga basobola okuziddukanya.
Nabakooba yalambise n'ebyasaliddwawo olukiiko lwa baminisita ku nsonga y'omuliro ogwasaanyawo ekizimbe eky'ebyafaayo ekya Ivory Tower e Makerere mu September 19,2020.
Kabineti yalagidde okuddamu okutereeza amasannyalaze mu kizimbe kino, okwongeza ku mbalirira y'okulabirira eby'obugagga bya Yunivasite eya buli mwaka, okuteekawo omukugu mu by'amasannyalaze ng'atuula ku lukiiko olufuzi olwa Yunivasite okukakkasa nti kkamera zonna ezirimu mu Yunivasite zikola. bulungi,poliisi evunaanyizibwa ku by'okuzikiriza omuliro okwongerwa amanyi n'ebikozesebwa n'okuteeka emmotoka ey'enkalaakalira munda mu yunivasite n'ebirala.