Thursday, January 28, 2021

Mmotoka y'amafuta etomedde kabangali ku lw'e Masaka entambula n'esannyalala

Mmotoka y'amafuta etomedde kabangali ku lw'e Masaka entambula n'esannyalala

Entambula esannyaladde ku lw'e Masaka, mmotoka y'amafuta bw'etomedde kabangali abadde eyimiridde okumpi n'awateereddwa emisanvu gya poliisi e Kampiringisa, zonna ne zikwata omuliro ne ziteta ne zigwawo.

Mmotoka ya mafuta ebadde eva Kampala ng'edda Masaka etomedde kabangali awali emisanvu gya poliisi e Kampiringisa ku lw'e Masaka.

Kati mmotoka ezidda e Kampala zisazeewo kuyita ku luguudo lwa Mpigi- Gomba okusobola okutuuka e Masaka.

Kabenje  Emmotoka Nga Zibengeya.

Kabenje   Abapoliisi N'abantu Nga Basobeddwa.

Ababadde mu mmotoka zino basatu basimattuse n'ebisago omu n'addusibwa mu ddwaaliro ng'alina ebisago ebyamaanyi.

Poliisi y'e Kammengo ne Mpigi zisobeddwa olw'omuliro ogutuntumuka ng'ate tebalina mmotoka ezikiza muliro ekivuddeko abatuuze okutabuka nga banenya poliisi obutabeera na bikozesebwa ne basaba gavumenti okukola ku bintu ebitaasa obulamu bw'abantu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts