Tuesday, January 5, 2021

Jjuuko ow'ebikonde attottodde by'ayiseemu mu buwambe

Jjuuko ow'ebikonde attottodde by'ayiseemu mu buwambe

JUSTIN Jjuuko eyaliko nnakinku w'ebikonde alombozze by'ayiseemu mu nnaku 18 z'amaze mu buwambe mu nkambi z'amagye essatu; e Kasajjagirwa (Masaka), e Mbuya ku kitebe ky'amagye (CMI) n'e Makindye mu nkambi ya miritale.

Jjuuko 48, eyakazibwako erya ‘The Destroyer' yawambibwa nga December 12 e Masaka n'asooka aggalirwa mu nkambi y'amagye e Kasajjagirwa gye yaggyibwa n'atwalibwa e Mbuya ku CMI n'oluvannyuma e Makindye era alumiriza nti baamutulugunyizza nnyo e Mbuya.

Agamba abaamukwata baamulabizza ennaku etagambika omuli okumutulugunya okwa buli kika, okumuzunza mu makomera ag'enjawulo kyokka nga bamulanga bwemage.

Yayimbuddwa nga December 31, oluvannyuma lw'aba ffamire okutwala omusango
ogw'okumuwamba mu kkooti.

Mu lukiiko lwa bannamawulire Jjuuko lwe yatuuzizza mu Kampala, yategeezezza nti nga December 9, yasimbula e Kampala n'agenda e Masaka ku nsonga z'okuwandiisa
abagenda okukuuma akalulu k'abeesimbyeewo ku bifo ebyenjawulo mu kibiina kya FDC ky'awagira.

Obuvunaanyizibwa buno bwamuweebwa bakama be mu lukiiko lwe yayitibwamu ku
kitebe e Najjanankumbi okuwandiika abagenda okukuuma akalulu k'ekibiina mu disitulikiti 9 ezikola ‘Greater Masaka.'

Ng'atuuse e Masaka, yakwatagana ne munna FDC Garrypaul Mayanja bwe baali bakwasiddwa eddimu.

Agamba ye ne Mayanja baategeka olukiiko mwe baalina okusisinkanira abamu ku ba kaada ba FDC mu kitundu kino ku kisaawe e Kyazanga kyokka akitegeera luvannyuma
nti waaliwo abantu abaali babalinnya akagere nga bamanyi n'ebyali bigenda okuba mu lukiiko.

"Nasooka kuwuliziganya ne Mayanja ne tukkaanya tutuuke awaali wagenda okuba olukuηηaana ku ssaawa 5:00 ez'oku makya wabula mu ddakiika 15 ezaddako essimu
ya munywanyi yali evuddeko era saddamu kumuwuliza. Nakubira bannange abalala omwali Joseph Yiga omuwanika wa FDC e Masaka ng'ono ye yakatutema bwe yali
awulidde nti Mayanja yali akwatiddwa abeebyokwerinda," Jjuuko bwe yannyonnyodde.

Jjuuko agamba nga yaakatuuka ku kisaawe e Kyazanga yamalawo eddakiika bbiri zokka abasajja basatu abaali mu ngoye ezaabulijjo ne bamusalako ne bamutegeeza
bwe yali akwatiddwa kuba baali bazudde nti akunga abantu abaali bagenda okukola obujagalalo mu kulonda okwa nga January 14.

YEEGAANYE EBY'OKUMUSANGA N'EMMUNDU
Jjuuko agamba baali bamutaddeko ogw'okuba n'emmundu n'agamba nti ye takwatangako wadde ekisosonkole ky'amasasi tamanyi wadde bwe bagikwata.

Agattako nti, "bwe mba nga nasangibwa njigiriza abantu enkozesa y'emmundu kyazze kitya okunnyimbula nga sirina musango gwonna gunvunaanibwa?" Jjuuko bwe yeebuuzizza.

Yagasseeko nti mu kiseera kino akyayogerezeganya ne bannamateeka be balabe eky'okuzzaako.

MUNNE BWE BAABASIBA TAMANYIDDWAAKO MAYITIRE
Jjuuko era yategeezezza nga bw'atamanyi bikwata ku munne Mayanja bwe baakwatibwa gw'agamba nti yasemba kumulaba mu nkambi y'e Kasajjagirwa.

Jjuuko era yasabye ebitongole by'ebyokwerinda mu ggwanga bireete abakubi b'ebikonde bonna abaakwatibwa okuli; Joey Vegas Lubega, Mudde Ntambi n'abalala
mu kkooti bawozesebwe bafune n'obwenkanya kuba ffamire zaabwe ziri mu bweraliikirivu.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts