Wednesday, January 20, 2021

Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46

Joe Biden alayiziddwa nga  pulezidenti wa Amerika owa 46

WASHINGTON Amerika

Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump  owa Republican amazeeko emyaka ena gyokka.

Biden, 78,  alayiziddwa omulamuzi wa kkooti y'oku ntikko, Justice John Roberts mu US Capitol wadde nga gw'addira mu bigere Donald Trump omukolo aguzize.

"Luno olunaku lwa Amerika. Lunaku lwa ssuubi .

"Demukulaasi asoosoowaziddwa," Biden bw'agambye.

Kamala Harris Omumyuka Wa Pulezidenti Biden Ng'alayira.

Abamu Bantu Ababaddewo Mu Kulayiza Biden.

Kamala Harris naye alayiziddwa okumyuka Biden ng'omukazi asoose okuba omumyuwa wa Pulezidenti mu Amerika. Ono mukyala alina omusaayi Omuddugavu n'Ogwekiyindi.  

Mu kifo ky'okwanirizibwa enkuyanja y'abantu ku nguudo nga bwe gutera okuba, leero zibadde nkalu wabaddeyo byuma n'abajaasi obwedda abambadde masiki nga bakirako abagenda mu lutalo.

Olw'ekirwadde kya covid 19, abajaasi nga 25,000 be babaddewo ku mukolo guno, abantu abasing balagiddwa obutajja olw'okutangira obulwadde buno obweriisa enkuuli mu Amerika n'ensi yonna.

Abamerika abasinga omukolo guno bagulabidde ku ttivvi n'essimu zaabwe.



Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts