Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kubulako ssaawa busaawa kuggwe.
Ssentebe wa disitulikiti y'e Mukono, Andrew Ssenyonga ng'avuganya ku kifo kye kimu nga talina kibiina yavudde mu buntu n'alangirira nga bw'avudde mu lwokaano ng'ebula ssaawa busaawa okulonda kuggwe.
Ssenyonga okusalawo kuno yakukoze ku ssaawa nga 7:30 mu ttuntu oluvannyuma lw'okumala okulonda ku kisaawe kya Seeta C/U P/S mu divizoni y'e Goma mu munisipaali y'e Mukono.
Ono okuva mu mbeera agamba nti kyavudde ku kugwa mu lukwe lw'okubba obululu lwe yateeberezza okulukibwa abaakulidde okulonda mu bifo eby'enjawulo.
"Nga kye ngye mmale okulonda, ntegeezeddwa nga be nnalonze okukuuma obululu n'abalala aba bannange bwe baalagiddwa abakulira okulonda bateeke emikono ku mpapula okuwandiikibwa ebivudde mu kulonda ezimanyiddwa nga DR forms. Kino kikyamu kuba baakikoze misana ssaawa 7:00 nga kitegeeza olwo abakuliddemu okulonda baba bagenda kukozesa omukisa okuwandiikamu bbo bye baagala. Kikyamu okulaba ng'abamu ku be tuvuganya nabo bakozesezza akakiiko k'eby'okulonda okubba obululu," Ssenyonga bwe yannyonnyodde.
Ssenyonga wakati mu busungu yayise poliisi y'e Seeta eyakuliddwaamu OC waayo Edward Isanga n'akulira ebikwekweto eyategeerekeseeko erya Atwine okujja okulaba ogubadde.
Bano baakizudde nga ddala kituufu empapula za DR form baabadde zaateereddwaako omukono ba Agent era wano Atwine n'azibowa. Ssenyonga yagambye nti okugenda mu maaso n'okukkiriza ebivudde mu kulonda bino n'okusigala mu lwokaano luno aba alidde mu bantu b'e Mukono olukwe abaakedde okugenda okulonda nga basuubira nti okulonda kugenda kubeera kwa mazima na bwenkanya.
Yagambye nti yabadde agenda kuwandiika mu butongole eri akakiiko k'eby'okulonda akategeeze ebyabaddewo n'okutuuka okusalawo okuva mu lwokaano.
Wabula yasabye poliisi okukwata abakuuma akalulu ke batwalibwe ku poliisi bakole siteetimenti nga balaga kyazze kitya okuteeka emikono ku DR forms nga n'okulonda tekunnaggwa.
"Gwe banaasanga ng'abadde aguliriddwa okukola ekyo, avunaanibwe ng'amateeka bwe galagira. Ate n'abakulira eby'okulonda nsaba bayisibwe mu ngeri y'emu," bwe yannyonnyodde.
Ssentebe w'eggombola y'e Goma, Erisa Mukasa Nkoyoyo y'agambye nti nabo embeera eno yabakubye wala. Nkoyoyo yasabye ab'eby'okwerinda okulawuna mu bifo eby'enjawulo omulondebwa bazuule oba ng'embeera nayo eri bw'eti olwo balabe eky'okukola.
Mu kusooka, Rev. Peter Bakaluba Mukasa omu ku bavuganya ku kkaadi ya NUP yalondedde ku ssomero lya Bright College erisangibwa okumpi n'ekisaawe ky'essaza ly'e Kyaggwe e Nakisunga ku kyalo Lusera.
Wabula oluvannyuma lw'okulonda, ate ekyuma ekiteekebwamu ebinkumu by'abantu kyakyankalanye okumalira ddala eddakiika nga 30 era okulonda ne kusooka kuyimirira.
Mu kwogerako ne Bukedde, Bakaluba yategeezezza nti wadde abantu tebajjumbidde kulonda kuno nga n'ebyuma bimazeemu amaanyi abo abaabadde bakedde okugenda okulonda, mugumu nti ajja kusobola okuwangula akalulu kano.
Bakaluba bwe yabuuziddwa ku ky'okuba nti disitulikiti y'e Mukono y'emu kw'ezo ezaasudde ababaka ba NRM ekiyinza okukosa obuweereza naddala okuva mu gavumenti Bakaluba yagambye nti nga ye eyaliko mu palamenti akimanyi bulungi nti ekyo tekirina bwe kigenda kubakosaamu yadde.
Mu bifo ebisinga obungi, okulonda tekwajjumbiddwa ng'era obwedda abalondesa balabibwa nga bali ku byabwe.
Abantu bataano be bavuganya mu lwokaano luno okuli; Bakaluba owa NUP, Al-haji Haruna Ssemakula owa NRM, Godfrey Kiregga Musisi owa DP, Nicholas Munyagwa ne Peter Nsubuga nga bano tebalina bibiina.
Thursday, January 21, 2021
Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kunaatera okuggwa
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...