Sunday, January 10, 2021

Kafeero, Ssimbwa ne Mujjuuka beetwala e Nakifuma

Kafeero, Ssimbwa ne Mujjuuka beetwala e Nakifuma

OKUVUGANYA okw'amaanyi ku bubaka bw'e Nakifuma mu disitulikiti y'e Mukono kuli wakati wa Robert Kafeero Ssekitooleko (NRM), Fred Ssimbwa owa NUP, Patrick Mujuuka ne Sulaiman Kiwanuka atalina kibiina.

Omubaka Kafeero.

Kafeero ye mubaka aliko era amaze ebisanja bibiri. Amaanyi gamuli nnyo mu bakyala abagamba nti abayambye okubasakira ebintu eby'enjawulo. Agambibwa okuba ng'alina ssente ezitambuza kakuyege we obulungi. Kyokka bamulumiriza okusuubiza ekisusse n'atatuukiriza ng'enguudo, amasannyalaze, amazzi amayonjo kyokka bingi bikomye mu bigambo.

Ssimbwa afunye obuganzi olw'okujjira ku kaadi ya NUP ekimutunze mu bavubuka. Kyokka n'akalulu yakakeera okukanoonya ng'ayamba abakadde, ebyemizannyo n'okuddaabiriza nayikondo. Obunafu bwe bamulinako abatamuwagira bagamba mukambwe nnyo ate engeri gyali omusuubuzi tebeekakasa oba taabalyemu bulyi n'abulawo.

Ssimbwa.

Mujuuka mumanyifu nnyo mu bantu olw'okuba baludde nga bamuwulira ng'aweereza ku leediyo. Wadde talina kibiina kyokka eky'okuba ng'awagira Kyagulanyi ku bwa Pulezidenti kimutunze era emabegako nga tebannawera nkuηηana abadde aleeta abayimbi mu kitundu. Yakolako n'ensiisira z'ebyobulamu. Kyokka abatamuwagira bagamba ebbanga lyonna  babadde tebamuwulirangako ng'ayogera nti w'e Nakifuma okutuusa bwe yafuna entegeka z'okwesimbawo.

Ekirala n'amaka yaakagazimba mu kitundu. Sulaiman Kiwanuka amanyiddwa ng'aweweera engalo era abalonzi bwe bamulaba bamanya olunaku luwedde. Erinnya lya kitaawe omugenzi Juma Nkambwe eyali ow'emmotoka z'empaka kimutunze naddala mu bannabyamizannyo.

Kyokka eky'okuba ng'avuddeyo kikeerezi okulangirira kimukosaamu era waliwo n'abalonzi mu bitundu ebimu abagamba nti tannabatuukamu. Abalala abeesimbyewo e Nakifuma kuliko; Zuliya Basiima, Siraje Batte (ANT), Lameka Kawombe (DP), John Kyebatala, John Jackson Batwala ne Paul Olungi (FDC).

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts