OMUSUMBA David Kiganda ow'ekkanisa ya Christianity Focus Centre mu Kisenyi asabye abantu okussa ekitiibwa mu biraamo by'abafu.
Bino abyogeredde ku kyalo Mugongo mu Kyengera Town Council mu kuziika Damallie Wannyana Kironde Ssematimba 72 abadde omugoberezi we.
Kiganda nga tannatandika kusaba asoose kusomera bakungubazi ekiraamo ky'omugenzi kye yawandiika nga January 29, 2018 mwe yategeereza nti emikolo egy'okumuziika girina okukolebwako aba kkanisa ya Kiganda era bwe bamala okumuziika balage abakungubazi omusika we Connie Nandawula.
Kiganda awadde abazadde amagezi okuweerera abaana baabwe kubanga kye ky'obugagga ekitaggwawo kye basobola okubalekera okusinga ebintu ebikalu.
Oluvannyuma asabidde omusika Connie Nandawula era namwatuza obulokozi n'oluvannyuma n'amukwasa Bayibuli ng'ekyokulwanyisa era namukalaatira okwagala abantu ng'omugenzi bw'abadde.
Damallie yafudde bulwadde bwa Covid-19 era aziikiddwa nga bagoberera ebiragiro bya minisitule y'eby'obulamu.