Aludde ng'ali ku ludda oluvuganya gavumenti era y'omu ku baasooka okuyingira ekisinde kya People Power nga tekinnaba kutondawo kibiina kya National Unity Platform (NUP). Alina enkolagana ya maanyi n'abanene mu kibiina kya NUP era kigambibwa nti Mmeeya w'e Makindye Ali Kasirye Nganda Mulyannyama y'omu ku bamutunda mu bakulu mu kibiina.
Okusoomoozebwa kw'alina kwe kw'okubeera nga y'omu ku bakkansala abaawagira eky'okuggyamu Lukwago obwesige mu kisanja ekyasooka ekya 2011 - 2016. Lukwago baamuggyamu obwesige mu November 2013 era kigambibwa nti abalonzi e Makindye beesigama nnyo ku nsonga eyo obutawa Zahara Luyirika bululu mu 2016 era yakomyewo mu kulonda okwabaddewo nga January 20, 2021 oluvannyuma lw'okweyubula n'adda mu NUP.
Abamu bagamba nti Lukwago naye ayinza okukisangamu obuzibu okuwagira Luyirika okubeera Sipiika olw'ebyaliwo nga bamugoba mu ofiisi. JAMES MUBIRU Ono abadde atambulira nnyo ku Kyagulanyi mu kunoonya obululu era y'omu ku be baakwatira mu Buvanjuba bwa Uganda ne baggalirwa era baamuyimbudde ku lunaku akalulu ka bakansala lwe kaakubiddwa.
Wabula abamu bamutunuulira ng'alina "omuliro" omungi ate ng'ekifo kya Sipiika kyetaaga obukkakkamu, okuwuliriza n'okusalawo nga weesigama ku mateeka n'engeri ensonga gye ziba zirambikiddwa. Kyokka abamuwagira bagamba nti asobola kubanga yasoma ebyamateeka era afaayo ku nsonga eziruma abantu.
HAKIM KIZZA SAWULA Ono y'omu ku bavubuka abaayiseemu mu kalulu mu ngeri eyabadde tesuubirwa. Ebiseera bye ebisinga abimazeeko ng'aweereza mu ofiisi ez'enjawulo e Mmengo. Ye National Chairman wa Nkobazambogo. Agatta abavubuka bangi mu kibiina kya Nkobazambogo.
JEREMIAH KEEYA MWANJE Ono munnamateeka era y'abadde omuwandiisi w'akakiiko ka NUP ak'eby'okulonda aka Elections Management Committee. Atunuulirwa ng'omuwulize eri ekibiina kya NUP kyokka tabadde mu byabufuzi bya gavumenti ez'ebitundu.
MOSES KATAABU Alina obumanyirivu bunene mu byobufuzi era y'omu ku bakkansala abatono ababadde mu lukiiko lwa KCCA ekisanja ekiwedde abaasobodde okuwangula ekisanja kino. Lukwago yamulabamu obusobozi n'amulonda ku kifo ky'akulira ebyensimbi mu KCCA, ekifo kyaliko kati.
Abadde wa DP era aludde mu kibiina kya UYD kyokka bwe yeegatta ku People Power oluvannyuma eyavaamu NUP n'afuuka muwulize era omujjumbize eri ekibiina kino ekipya. Wabula okufuuka Sipiika, ekifo ekyamuweebwa Lukwago kibeera kimufa kubanga ekifo kya Sipiika kyemala era akifunye ate tabeera ku lukiiko olufuzi olw'abantu abana Lukwago b'alonda okuli n'omumyuka wa Loodi Meeya.
Okulonda Sipiika kusuubirwa okubeerawo mu May 2021 nga bamaze okulayira era Lukwago asuubira okulangirira abantu abana b'anaaba alonze era ku bifo ebyo aba FDC abasatu abaayiseemu kwe basuubirwa okufuna era ebifo ebimu Lukwago asuubirwa okubiwa aba NUP kubanga be basinga obungi mu lukiiko lwe.
Ensonda zaategeezezza nti wadde enkambi ya Lukwago yandiyagadde nnyo okussaawo Doreen Nyanjura owa FDC addemu avuganye ku kya Sipiika wa KCCA, wabula balina okutya nti ayinza obutayitamu era nti ekiyinza okukolebwa kwe kumuleka mu kifo ky'alimu kati eky'omumyuka wa Loodi Meeya olwo kkanso n'esigala kumukakasa bukakasa n'abantu abalala abasatu abanaaba balondeddwa Lukwago.
Kigambibwa nti ku ba FDC abaayiseemu, Lukwago ayinza okulondako babiri b'anaawa ebifo ebibiri ate ebifo ebirala ebibiri abiwe aba NUP mu kuzimba enkolagana enaamusobozesa okutambula obulungi ne kkanso ejjudde aba NUP.
Lukwago yategese akabaga wiiki eno n'asisinkana bakansala abaalondeddwa era buli ludda ne luwa obweyamo okukolera awamu kubanga bonna bali ku ludda oluvuganya gavumenti. Kigambibwa nti wajja kubaawo okwogeraganya wakati wa Lukwago n'obukulembeze bwa NUP okusobola okutambulira awamu mu kulonda abanaatwala ebifo bino.
KKANSO BW'EFAANANA Aba NUP be basinga obungi mu lukiiko lwa KCCA nga bawera 41 kw'abo 44 abaamaze okulondebwa. FDC erina bakansala 3 bokka, DP ne NRM tebaafunyeeyo bakkansala balondebwa butereevu. Waliwo ebifo 6 ebya bakkansala abatalondebwa butereevu omuli eby'abaliko obulemu, abavubuka n'ebirala ebitannalondebwa era NRM esuubirwa okuyisaamu abantu ku bifo ebyo. Sipiika alondebwa bakkansala ababa bamaze okulayizibwa era asinzizza obululu obungi y'alangirirwa.
ABABADDEKO BAKANSALA BAWABUDDE Daudi Lwanga: Ono abadde kkansala wa NRM owa Kampala Central kyokka teyazzeemu kuvuganya. Yagambye nti tasuubira kkansala yenna kuddamu kulwanyisa Lukwago kubanga teri afuna mu ntalo ezo.
Kyokka yagasseeko nti okulwanira ebifo nakyo tekiyamba kubanga kitemaatema mu bantu era ekisinga obukulu kutuula ku mmeeza ne bakkaanya ku muntu agwanira ekifo ekyo, ate abatafunye ne bakkiriza okusimba emabega w'abo ababa bakkaanyiziddwaako.
Ismail Ddamba Kisuze; Ono naye abadde kkansala ku KCCA kyokka baamuwangudde. Ono yawabudde aba NUP abayingidde City Hall okwewala okweyagaliza wabula amaanyi bagateeke ku kuweereza abantu ate bafube n'okutambulira mu mateeka n'okwewala okukozesebwa bannakigwanyizi abaagala okukutulira ddiiru zaabwe mu City Hall.
Source