OKULONDA okwakaggwa kwabaddemu omuyaga ogwakunse okukkakkana nga kasasiro agendeddemu n'ebijanjaalo eby'okulya ebyabadde byanikiddwa mu luggya.
Abamu wadde baagezezzaako okussaayo ebiti bizizike ebijanjaalo ebyabadde bikunsibwa, kyokka abangi obwedda babitegulula nga bwe bagamba nti omuyaga teguzibirwa kkubo. Gye byaggweeredde ng'abamu bajaganya kyokka ng'amaka mangi gakyebuuza gye bagenda okuggya enva. Bano batuuse okulya amaluma.
Ekirungi amaluma tewali waakuganenyeza kuba abangi baakyamuse ne balemebwa okutaasa ebijanjaalo eby'omugaso. Ekimu ku kyewuunyisa be bantu obwedda b'owulira nga bagamba nti, "Kayizzi asamba bulungi era ateeba, kyokka olw'okuba asambisa kkono, tumuggyeyo tuteekeyo Byekwaso ne bwanaakuba ddimuula." Bwe nawulidde aboogera batyo nakutte ku mutwe wakati mu kunyeenya omutwe ng'embuzi etenda enkuba nga nneebuuza eyatuloga ne tutuuka ku ssa ly'okwerabira okuleka ekirungi n'ogenda n'ekibi ky'olaba.
Ebyobufuzi by'okukyamuukirira nga tulonda bifundikira bifiirizza ffe abalonzi. Ate onaanenya ani nga kkansala alemeddwa okwanja ensonga mu lukiiko mu Lungereza ng'okimanyi bulungi nti bateesa mu Lungereza ate ye waamujiji.
Kituufu omuzannyi w'omupiira yenna asobola okukoowa ne muteekamu omulala akyalina amaanyi. Kyokka bw'oggyamu omuzannyi n'oyagala okumusikisa omuwagizi atali ‘ffiiti' obeera weetunze wekka. Wadde nga tulina ebibiina byobufuzi bye tukkiririzaamu, kyokka tulina okusigala nga tukimanyi nti ffenna tuli Bannayuganda.
Ekikulu kye tusinga okwetaaga bwe buweereza kuba oluguudo n'eddwaaliro ababikozesa tebamala kubuuza kaadi ya byabufuzi. Mu kulonda okusigaddeyo twetaaga okwongera okwekubamu ttooci nga twekenneenya abantu be tulonda tukakase nga basaanidde. Bwe tutaakole tutyo ensi ejja kugwira ddala eddalu ekankada nga tewali asobola kuyamba.
Abakulembeze bwe bwandibadde obuddukiro y'okututuusiza ebizibu byaffe mu bakulu. Kyokka bwe tuba tusindika ‘bikonwa' tubeera tugalinnye gye gava. Mu 2016, waliwo abantu abaawuniikirira nga beebuuza kye baaliko, oluvannyuma lwa kkansala omu gwe baali baalonda ng'azze okubeebaza.
Obuzibu we bwava mu kiseera ekyo era waaliwo omuyaga ogwakunta ne gulemesa abantu okwekenneenya abantu abasaanidde. Gye byaggweera ng'abalonzi bejjusa era mu kulonda okwakaggwa baakusudde bbali. Kituufu omuyaga gusobola okujja n'ebirungi, kyokka obuzibu bwe guba gugenda byonna bigenderamu ne bye gutaaleeta.
Teebereza abalonzi abamu beesitudde ne bagenda ew'abantu be bataalonda ne beetonda nga bwe bagamba nti; ‘honalebo tusonyiwe tetwagenderera kukusuula'. Embeera y'okulonda abantu mu butanwa y'eviirako abakulembeze okweyisa mu ngeri etajja. Nga tetunnenya abamu ku bakulembeze be tulina , twebuuze bo twabaggya wa era baali bakola ki?
Nazzikuno abakulembeze tebaagwa nga bugwi, wabula baalinga bantu abamaze okwetegerezebwa okuviira ddala ne gye baakulira. Omukulembeze bazaala muzaale era abakulembeze ab'enkizo bw'obeekenneenya olabira ddala nga ‘kasugga kagoba kisambu'. Bannaffe abakulembeze ab'obutanwa, nammwe mukyasobola okwekolamu omulimu ne mwedaabulula buggya.
N'abagamba baalugera nti kikonyogo bakikasuka kulaalira ne kiramira mu kyokero. Bangi tubazadde mu nsobi, kyokka tekitegeeza nti era mulina kuwangaalira mu nsobi. Ekikulu kya kwezuula n'omanya nti obunafu bwo n'amaanyi go wegali n'osobola okwezza obuggya.