Mu CAF Confederations Cup
KCCA 3-1 AS Kigali
KCCA FC, eggulo yeggyeeko ekikwa ky'obutawangulira mu kisaawe kya Vipers e Kitende bwe yawangudde AS Kigali eya Rwanda ggoolo 3-0 kyokka n'ewanduka mu 'CAF Confederation Cup'.
Okuva Vipers SC lwe yazimba ekisaawe kino, KCCA ebadde yaakazannyirayo emipiira 4 ng'ekubiddwaayo 2 n'amaliri 2. Wabula eggulo yawanguliddeyo kigali wabula yalemeddwa okuteeba ggoolo 3-0 ze yabadde yeetaaga okugenda ku luzannya oluddako.
Mike Mutebi, bukya atwala mulimu gwa kutendeka KCCA, takubangako ttiimu ggoolo 3-0 mu za Afrika wabula yayingidde omupiira guno ng'aweze okuzifuna ng'agamba ttiimu ye yabadde mu mbeera nnungi ng'erina n'abazannyi bamalirivu.
Ttiimu gye yatandisizza yalagiddewo nti ggoolo ezeetaaga, kuba ku bazannyi 11 kwabaddeko abazibizi basatu ne ggoolokipa Charles Lukwago, ng'abasigadde balumba bulumbi.
Mu ddakiika esooka, Brian Aheebwa yakubye ggoolo, akatebe ka KCCA ne kasituka nga kawaga nti basobola okuteeba ggoolo endala bbiri.
AHEEBWA AMAANYI GAMUFUDDE BUSA
Aheebwa yataddewo omutindo omusuffu bwe yateebye ggoolo essatu ze baabadde beetaaga kyokka banne ne bamuyiwayo.
Yateebye mu ddakiika esooka, 40 ne 74, kyokka peneti ya Muhadjir Hakizimana yayonoonye akabaga ka KCCA, n'ewandukira ku mugatte gwa ggoolo 4-3.
Eric Nshimiyimana, atendeka AS Kigali yagambye nti yabadde mugumu nti ateekwa okuwandula KCCA kuba yabadde tesobola kumukuba ggoolo 3-0. "Twazze n'ekibalo kyaffe nga kya kuzibira nga bwe tulumba era kyatukoledde. Nabadde mmanyi nti bwe batuteebayo naffe tusobola okuteeba" bwe yeewaanye.
Thursday, January 7, 2021
KCCA ewandukidde mu maanyi
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...