Abeesimbyewo ku bifo by'obubaka bwa palamenti eby'enjawulo bayitiddwa ku kitebe ky'akakiiko k'eby'okulonda okubeerawo ng'ebinaakozesebwa mu kulonda bituusibwa mu ku kitebe ky'eby'okulonda mu disitulikiti y'e Mukono.
Bano era baabaddewo n'okulaba enteekateeka y'okubitikkula okuva ku mmotoka ezaabireese n'okulaba nga biterekebwa mu kifo mwe bigenda okukuumibwa okutuuka ku lunaku lw'eby'okulonda nga January 14.
Akulira eby'okulonda mu disitulikiti y'e Mukono Mark Muganzi Mayanja ye yakuliddemu omulimu guno ogwabaddewo ku Lwokusatu wakati mu byokwerinda ebyakuliddwa adduumira poliisi mu disitulikiti y'e Mukono Abubaker Musiho.
Muganzi yategeezezza abeesimbyewo n'abamu ku babaka b'abo abataabaddewo nti ebikozesebwa mu kulonda ebigenda okukola mu bifo 619 bye byatuusiddwa ku kakiiko era n'abakakasa nti bigenda kukuumibwa bulungi.
Abamu ku beesimbyewo abaabaddewo kuliko; Mary Margaret Nalugo Ssekiziyivu ayagala eky'omubaka wa disitulikiti omukyala, Fred Kayondo ne Wilson Male nga bonna baagala kya mubaka wa Mukono South mu palamenti, Erisa Mukasa Nkoyoyo eyakiikiridde omubaka Betty Nambooze n'abalala.
Nalugo yalaze obutali bumativu okulaba nga bwe baabadde basindika ebikozesebwa bino, akakiiko k'eby'okulonda tekaataddeko lukalala lulaga bye basindise biri bimeka era ennamba zaabyo eziri ku buli kabookisi ziri ki nga zino yabadde asuubira nti buli mubaka yandibadde afunako kkopi olwo n'akakasa oba by'ebyo bye baasindise ng'era bituuse bulungi ewatali kukwatibwako.
Wabula bwe yayogedde ne Muganzi yamutegeezezza nti bwe baba baagala okufuna olukalala olwo balina kugenda ku kitebe ekikulu eky'akakiiko k'eby'okulonda e Kampala ye kye yategeezezza nti tekyabadde kituufu.
Ezimu ku ssiiru ezisiba obululu obwedda ku bbokisi ezimu zisangibwa nga zaakutuse nga wano obwedda basoma ennamba eziziriko ne ziwandiikibwa olwo ne kuteekebwako endala.