Tuesday, January 5, 2021

Kompyuta n'ebyemikono bifuuke byabuwaze mu masomero

Kompyuta n'ebyemikono bifuuke byabuwaze mu masomero

MU by'okuyiga Covid-19 by'atuwadde, mwe muli n'eky'amasomo ag'okussaako essira ng'amasomero gazzeemu.

Amasomo nga aga kompyuta agabadde aga kyeyagalire mu siniya kati gasaana kufuuka ga buwaze, kubanga ng'oggyeeko okuba nti kati okusoma kujja kuba kwa ku mitimbagano, n'emirimu egivaamu ssente kati bakasitoma basooka kukubuuza ‘pass word' y'omutimbagano gwo, ‘link n'ebigambo ebirala eby'olulimi lwa kompyuta.

Kino kitegeeza nti anaaba tamanyi kompyuta, ensi etandise okumuwuubira akatambaala.
Kino ng'okiggyeeko, okuwummula abaana kwe babaddemu olwa Covid-19, bayize emirimu egy'enjawulo.

Waliwo abayize saluuni, okubaggya, okulima egy'obutale n'emirala nga buli omu bw'abaddenga asobola okuyiiya okusinziira mu kitundu kye.

Kati amasomero gandibadde gafuba okulaba nga obukugu bw'emirimu egyo abaana gye bayize tebufa ttoge.

Amasomero gafube okutumbula obukugu bw'abaana abo mu mirimu egyo. Twali twanoonya dda bye twongera mu nsomesa y'abaana baffe okuba nti bibagasa.

Kati kino kye kiseera. Buli ssomero liyinza okufuna emirimu abaana gye basinze okukola mu myezi gino 10 nga bayita mu kubabuuza kye babadde bakola, kye bafunyeemu n'okuba oba bakyayagala omulimu ogwo.

Bwe bakifuna, ne babategekerangayo emisomo; ate kati giigyo gya ku zuumu, okubongera okubawa obukugu mu kyo.

Mu nkola eno tujja kuba tulwanyisa n'ebbula ly'emirimu. Kubanga bingi ku baana bye babadde bakola, bibadde ng'emirimu gyabwe be bagyebangirawo.

Mu kyo banaaba bawonye ekyokunoonyanga emirimu mu ofiisi z'abantu egitaliyo!
Abantu bayige nti tekikyagasa nnyo omuntu okumubuuza nti, ‘okola wa?' wabula okumubuuza nti, "okola ki?!"

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts