AKASATTIRO keeyongedde mu bitundu ebyenjawulo olw'okukwata abantu ng'abamu babaggya mu mayumba gaabwe ekiro ne babasibira mu bifo ebitamanyiddwa.
Abakwata abantu abamu bajjira mu ngoye za bulijjo nga bambadde obukookolo mu maaso era nga babagalidde emmundu oluusi nga batambulira mu mmotoka ez'ekika kya ‘Drone' okutali nnamba ate abalala babeera mu byambalo ebiddugavu ebitategeerekeka
oba bya poliisi oba amagye.
Mu kiro ekyakeezezza Mmande, abatuuze ku byalo; Buyuki, Kayunga, Katoogo, Ssaamuuka ne Waluga mu muluka gw'e Katoogo mu ggombolola y'e Nama mu
disitulikiti y'e Mukono baasuze ku tebuukye olw'abatuuze bannaabwe okulumbibwa.
Paul Kawombe, kansala w'omuluka gw'e Katoogo mu kiseera kino ng'aliira ku nsiko
yategeezezza Bukedde ku ssimu nti yadduse mu maka ge kubanga baakalumba ekyalo emirundi ebiri era tamanyi oba ogw'okusatu lwe bakomawo bakima ye.
Omulundi ogwasooka okulumbibwa, abasajja baasamba enzigi z'abantu ne beggulira era buli musajja gwe baasanga mu nju nga bagenda naye.
Baatwala abantu mukaaga okuli; Isma Ssenkubuge eyali asiika capati mu katawuni
e Katoogo, Sula Kiwanuka, Juma Mukasa, Joseph Kyakuwa ne Stephen Ntulume oluvannyuma ne bazuulako omu ng'akubiddwa bubi asuuliddwa mu kibira ky'e
Kakiri ekisangibwa mu disitulikiti y'e Mukono.
"Abasajja bajja nga batujju kuba tewaliiwo wa kakiiko ka LC gwe bategeeza era n'enzigi bamenya menye," bwe yagambye. Harriet Nakanjakko omutuuze w'e Katoogo
agamba nti mu kiro ekikeesezza olwa Mmande abaserikale baalumbye amaka ag'enjawulo nga mu be baakutte kuliko ne batabani be basatu okuli; Joseph
Ssendege, Richard Ssekaggo ne Kavuga.
Abalala abaawambiddwa abaawambiddwa kuliko; Tony Kyambadde (16) amanyiddwa nga Jacob, Juma Tebusweke ne Fred Kamya.
Nnaalongo Robina Nadoi agamba nti mutabani we Fred Kamya (20) y'omu ku baawambiddwa wadde nga tamumanyi ng'omuzzi w'emisango. Alowooza
mutabani we bamulanga byabufuzi.
Muziki Nkolo Ssaalongo ow'e Katoogo agamba nti basobeddwa tebamanyi kyakukola
kuba kati okuba n'emirembe oli talina kusula mu nnyumba.
Hellen Nakivumbi mukazi wa Fred Kamya Yuya eyawambibwa nga December 23, 2020 agamba nti ku ssaawa nga munaana ogw'ekiro, baalumbibwa abasajja abaali bayambadde obukookolo nga bambadde ebyambalo bya poliisi ebiddugavu ne basamba
oluggi ne bayingira era bba baamukuba ppisito ku liiso ne ligenda nga litonnya musaayi era baamutwala ali bwereere.
Bano balumiriza abamu ku batuuze nti be batambula n'abakuumaddembe bano nga
babasongera mu bantu be bakwata.
Mu bano mwe muli Azed Kiziri Lwanga wabula ng'ono bw'atuukiriddwa agambye nti ye abavubuka abawagira Abudalah Kiwanuka be baamukolako effujjo.
Yasambazze n'ebyokusonga mu bantu n'agamba nti bamukonjera. Waliwo omuvubuka Reagan Kasumba omuvuzi wa Canter eyakubibwa essasi abasajja abaali mu ngoye ezaabulijjo nga bawamba abantu e Kabembe nga December 21, 2020.
E Ntebe ne Katabi bano be baawambibwa;Abamu ku bavubuka abze bawambibwa kuliiko Nsubuga Ashraf yabuzibwaawo nga Decemer 22, 2020 ku Lwokubiri , Sentongo Reagan okuva e Katabi yabuzibwaawo ku lunaku lwe lumu , Kasoma Jones Zaake ne Oteka Abraham babuzibwaawo nga December 24 / 2020, Kigozi Jamiru okuva e Mpala , Kayiwa Julius okuva e Kitala babuzibwaawo December 22, 2020 kw'ossa ne Kassim okuva e Kajjansi yabuzibwaawo nga December 22, 2020.
POLIISI ENNYONNYODDE
Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano yagambye nti kituufu baliko ekikwekweto kye baakoze ku kyalo Katoogo ku by'ekuusa ku ffujjo eryakolebwa ku muwagizi wa minisita Ronald Kibuule ayitibwa Joseph Lujja eyali ayambadde
omujoozi gwa kyenvu ne bamukuba nagwo ne baguyuza.
Onyango agambye nti abaakwatiddwa kuliko; Fred Kamoga, Henry Kasirye, Sulaiman Ddamulira, Hassan Kanyoro, Edward Mugambwa, ne Juma Tibusweke. Abalala ye, Isma Luyinda, John Kavuga, Hassan Kyamba, Richard Ssekaggo, Bama Ssekajja,
Joseph Ssendege, Isaac Segiwa ne Godfrey Magago. Bavunaanibwa n'okwonoona ebipande by'abeesimbyewo.
AB'E BUGOLOOBI BALI MU KUTYA
Vincent Nalumoso makanika mu katale k'e Bugoloobi mu Kampala yaggyibwa ku mulimu nga December 1, 2020 n'okutuusa kati taddangamu kulabika. John Kizito muganda wa Nalumoso yagambye nti zaali ssaawa 5:00 ez'oku makya nga bazannya
ludo, abasajja abaali mu ngoye ezaabulijjo nga babagalidde emmundu ne babakima ne Ronald Agaba.
Baabalinnyisa emmotoka ekika kya Drone etaaliko nnamba ne bababuzaawo. Wadde nga basuubira nti abeebyokwerinda be babalina naye batambudde poliisi ez'enjawulo okuli; CPS, Jinja Road, SIU e Kireka kyokka yonna bagamba si be bamulina.
Baggulawo omusango gw'okubula kwa Nalumoso ku poliisi ya Jinja Road oguli ku
ffayiro nnamba SD: 22/01/1/2021.
Abooluganda baasabye ab'ebyokwerinda bababuulire gye baasibira abantu baabwe kuba
tebakyebaka olw'ebirowoozo.
Ab'e Bugoloobi baasooka kufuna kutya nga December 23, 2020, emmotoka y'ekika kya Drone lwe yagenda mu katale n'ekwata abantu 11 kyokka oluvannyuma n'eyimbulako 10 ne basigaza Martin Lukwago.
Mary Namuyanja mukyala wa Lukwago yagambye nti wadde afubye okunoonya bba mu
makomera ag'enjawulo naye amubuliddwa era ffamire eyita mu kunyigirizibwa kuba omusibe y'abadde abalabirira.
MUSEVENI AWADDE EKIRAGIRO KU BAKWATIBWA
Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogera n'abamawulire ba Vision Group ku Ssande
yasabye ab'ebyokwerinda okutegeeza ab'enganda z'abantu ababa bakwatiddwa. Yalagidde n'ababa bakwatiddwa kyokka ne kizuulwa nga tebagenda kuvunaanibwa mu
mateeka okubayimbula mu kifo ky'okubakuumira mu busibe.
Museveni yagambye nti tawagira kya kusiba bantu nga tebamaze kuwozesebwa mu kkooti n'agamba nti; "sikkiriziganya na kya kukwata bantu n'osirika, kuba
tewali kyetaagisa kukweka. Abakwatiddwa batwalibwe mu kkooti oba babaleke badde awaka".
Bannayuganda yabawadde amagezi okukolagana obulungi n'abeebyokwerinda. "Bwe bakuyimiriza togaana era tosaanye kudduka. Bwe bakukonkona vaayo bulungi ogende nabo ku poliisi tewajja kubaawo mutawaana," Museveni bwe yagambye.
Tuesday, January 5, 2021
Abaserikale bayodde abantu mu mayumba
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...
-
South Africa's Health minister says the nation will still hit its COVID-19 vaccination targets, even as it pauses the use of the Johnson...