EDDIE SSEBUUFU (Eddie Mutwe) okumuggya e Masaka kyabadde kimaze okusalibwawo avunaanirwe mu kkooti y'amagye. Olwo n'entegeka eyabadde esoose okukolebwa okumutwala bamuvunaanire mu kkooti ento e Kyotera n'esazibwamu.
Eddie Mutwe nga y'akulira ttiimu ya bakanyama ekuuma Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) baamulinnyisizza mmotoka ne bamutwala butereevu mu kaduukulu k'amagye e Makindye.
Eno gye yasuze ne banne abalala 51. Baamuggye mu kkomera ly'e Masaka ku Ssaza Headquarters gye yabadde akuumirwa ku Lwokuna ng'alina okutwalibwa mu kkooti e Masaka gye yabadde asuubirwa mu kkooti y'omulamuzi Charles Yeteise, kyokka mmotoka mwe baamutadde, baagivuze bagyolekeza Kampala.
Okumutwala mu kkooti y'amagye ne banne naddala bakanyama abakuuma Bobi Wine kwesigamiziddwa ku kwambala enkoofiira emmyuufu eza "People Power", amagye ze gagamba nti kye kimu ku byambalo bya UPDF era ababyambala nga ssi bajaasi babeera bamenye etteeka lya UPDF.
LWAKI TEBAAMUTUTTE MU KKOOTI ZA BULIJJO
Akulira ekitongole ky'amakomera, Johnson Byabasaija yagambye nti, baabadde bafunye ebiwandiiko bya mirundi ebiri ebyabadde bitumya Eddie Mutwe ne banne, mu kkooti ez'enjawulo.
Ekimu, kyabadde kibalagira bamutwale mu kkooti e Kyotera gye baamuggulako omusango gw'okukuba omuntu ate ekirala, kyabadde kibalagira kumutwala mu kkooti y'amagye.
Byabasaija yagambye nti, baabadde balina okusalawo okulaba ekiragiro ekisingako okuzitowa kwe kumutwala mu kkooti y'amagye ekulirwa Lt. Gen. Andrew Gutti ku Lwokutaano.
Mu mmotoka Eddie Mutwe mwabaddemu banne abalala okuli Nubian Li (Ali Bukeni), William Buganda Ntege amanyiddwa nga Kyumakyayesu n'abalala 49.
Bbaasi ezaakimye abasibe ku kkomera e Masaka, zaabadde bbiri, emu yabaddemu 46 era eno ye yakulembedde ate endala, yabaddemu 52 n'esemba emabega.
Kigambibwa nti, eyasoose olwayiseewo, eyabadde esembye emabega abaamagye baagisazeeko ne bagiragira okudda e Kampala. Abaabadde ku kkooti baakanze kulinda bannaabwe nga tebalabikako era kigambibwa nti, bazzeeyo emabega okunoonya bannaabwe era eyo aba bodaboda gye baabategeerezza ebyabadde bituuseewo.
Balooya ba NUP, baasabye omulamuzi Yeteise okuyisa ekiragiro okukwata akulira ekkomera ly'e Masaka Henry Kidega abitebye kyokka omulamuzi ekyo n'akigaana wabula n'ayisa ekiragiro ekimuyita mu kkooti e Masaka ku Mmande yennyonnyoleko ku by'okunyooma ekiragiro kya kkooti.
LWAKI AMAGYE GE GASAZEEWO OKUMUVUNAANA
Okuva Eddie Mutwe lwe yakwatibwa, bakanyama abalala abazze beewaayo okukuuma Kyagulanyi nabo babadde bakwatibwa; ekikaluubirizza aba NUP mu kampeyini ze balimu, nga balina okwegabanyaamu; abamu beemalire ku kaweefube w'okununula bannaabwe, ate abalala bagende mu maaso ne kampeyini.
Wabaddewo essuubi nti Mutwe ne banne bwe bayimbulwa, olwo essira ttiimu yonna eba egenda kulissa ku kunoonya akalulu n'okunyweza pulaani y'okukuuma akalulu.
Munnamateeka era omubaka Medard Lubega Sseggona era nga naye mmemba wa NUP yagambye nti eno erudde nga y'enkola y'amagye okuyunga emisango ku muntu gwe baba baagala aleme kuteebwa, olwo ne bamutwala mu kkooti y'amagye ne bw'aba talina kantu konna keekuusa ku magye.
Yagambye nti amagye gazze gakozesa enkola eno ku bantu ba bulijjo kkooti za bulijjo be ziba ziragidde bayimbulwe naye ng'amagye gaagala basigale mu kkomera; kubanga mu kkooti eyo nti kizibu okusuubirayo obwenkanya.
Yagambye nti, kkooti y'amagye baagiwakanya dda mu kkooti etaputa Ssemateeka kubanga terina buyinza kuwozesa bantu baabulijjo kubanga yateekebwawo
kuwozesa bajaasi basiiwuuse mpisa.
Yakubye ebituli ne mu baddukanya kkooti y'amagye n'agambanti, tebalina kintu kyonna kye bamanyi ku mateeka.
"Osanga omuntu nga yasoma kutunga yunifoomu z'amagye naye nga y'awozesa omwana w'omuntu." Sseggona bwe yagambye.
Abeebyokwerinda bagamba nti bakanyama bakuma omuliro mu bantu nti era balina pulaani etabula emirembe mu kiseera ky'akalulu, ekintu aba NUP kye bawakanya.
Abantu abakwatiddwa naddala mu bitundu bya Kampala ne Wakiso nabo babeekengera
okukuma muliro mu bantu ng'akalulu kawedde.
Kkooti y'e Masaka nayo yali ewadde Eddie Mutwe ne banne basatu olwa January 19, 2021 okuwulira okusaba kwabwe okw'okweyimirirwa nga kino kitegeeza nti okulonda kwalina kubasanga mu kkomera, wabula ttiimu ya balooya ba NUP okuli Maggelan Kazibwe ne Benjamin Katana ne bassaayo okusaba okupya nga baagala Eddie Mutwe
ne banne baleetebwe mu kkooti yeemu ey'e Masaka mu wiiki eno asobole okweyimirirwa.
Omu ku balooya yagambye nti wabaddewo emikisa mingi okuyimbula Mutwe ne banne
ssinga baatwaliddwa mu kkooti y'e Masaka kubanga ne ku Mmande lwe baatwalibwayo
omulundi ogwasooka, ekyalemesa bwali budde naye ebisaanyizo by'okweyimirirwa byonna yali abituukirizza.
Kino kinnyonnyola lwaki amagye gaasazeewo okumutwala mu kkooti y'amagye gye gaba gamuvunaanira.
KYAGULANYI AGUMIZZA ABAASIBIDDWA
Bwe yabadde mu lukuhhaana lwa bannamawulire mu maka e Magere ku lw'e Gayaaza ku makya g'Olwokutaano, Kyagulanyi yagumizza abantu bonna okubeera abanywevu baleme kuggwaamu maanyi olw'okukwatibwa kwa Eddie Mutwe, Nubian Li n'abalala.
Kyagulanyi yagambye nti ekkomera ly'amagye e Makindye baalimusibiramu era amanyi ebikolebwayo ebitali bya buntu kyokka n'alumba bayimbi bannaabwe abasirise obusirisi nga bannaabwe okuli Nubian Li, Dan Magic abafulumiza ennyimba n'abalala ng'eddembe lyabwe lirinnyirirwa.
Yagambye nti amagye gaabasibidde mu kkomera lyago mu bumenyi bw'amateeka era n'agattako nti tebalina na kutwalibwa mu kkooti y'amagye kubanga tebalina musango gwonna gwe bazza gubatwaza mu kkooti ewozesa abajaasi.
Kyagulanyi yategeezezza nti kkooti za wano embeera nazo ezisusseeko nga nazo ziringa eziri mu buwambe era kati nti bategeka kwekubira nduulu mu kkooti y'ensi yonna batwaleyo abakungu mu gavumenti abatyobodde eddembe ly'obuntu babavunaanire
eyo.
Yagambye nti egimu ku misango n'obujulizi bwe balina mulimu ebikolobero ebikoleddwa ku Bannayuganda omuli n'okutta abantu n'awa eky'okulabirako kya November 18, ne 19, 2020 omwaka oguwedde bwe yakwatibwa e Luuka abantu ne balaga obutali bumativu ate amagye ne gabaanukuza amasasi agatta abantu abasoba mu 50.
EBY'OKUYIMBULA EDDIE MUTWE NE BANNE BIKALUBYE
Ensonda zaategeezezza nti pulaani y'abeebyokwerinda ya kukakasa ng'abaakwatibwa bayimbulwa embeera y'akalulu emaze kuggwa, obunkenke nga bumaze okuggwaawo.
Ensonda zaategeezezza nti, okubavunaanira mu kkooti y'amagye, y'engeri yokka gye
baabadde basobola okubakuumira mu kkomera okutuusa ng'akalulu kawedde.
Kigambibwa nti, okukwata Eddie Mutwe ne banne e Kalangala nga December 30, 2020, kyali kyategekebwa dda era abaserikale baagezaako okumukwata enfunda eziwera ne bigaana okutuusa lwe baabataayiriza bonna e Kalangala ku bizinga.
Eddie Mutwe ne banne, baagattiddwa ku bawagizi ba NUP abalala 12 abaasooka okuvunaanibwa mu kkooti y'amagye nga babavunaana kusangibwa n'obukoofiira
obumyufu obwa People Power.
Nga December 29, 2020, abawagizi ba NUP okuli ; Muhammed Muzamiru, Ronald
Kayiwa, Umar Shafik, David Ojit , Junior Amanya, Godfrey Singoma, Alioni Anyo, Maxwell Okello, Shakuru Matovu, Hazard Kayondo, Sharif Nkalubo ne Akram
Kato, baasimbibwa mu maaso ga Gutti n'abasindika mu kkomera e Kitalya.
Nga December 14, 2020, kkooti y'amagye era yasindika abawagizi ba NUP basatu okuli Fred Nkuruziza, Stephen Sserwanga ne Shafik Wasinde mu kkomera e Kitalya ku
misango gye gimu.
Omusango gw'okusangibwa n'ebyambalo by'amagye nga toli mujaasi, Gutti yategeeza nga December 29, nti, guliko ekibonerezo ekisinga obunene kya kusibwa emyaka musanvu.
Saturday, January 9, 2021
Lwaki Eddie Mutwe bamututte mu kkooti y'amagye
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...