POLIISI ekutte omukazi agiyambeko mu kunoonyerezza ku mwana we ow'omwaka ogumu agambibwa okumubbibwako mu takisi.
Harima Nakyaze 20 ow'e Kazo yakwatiddwa poliisi y'oku Kaleerwe agiyambeko okunoonyerezza ku kubbibwa kw'omwana we, Phabiorah Kalungi mu takisi ng'ava e Kayunga adda e Kampala.
Nakyaze yagenze ku poliisi ne bba, Bernard Kalungi 24 omuvuzi wa takisi ez'e Kampala - Mpereerwe ne baggulawo omusango ku fayiro nnamba SD REF: 17/08/01/2021 ogw'okubbibwa kwa muwala waabwe.
Oluvannyuma baalagiddwa okukola sitatimenti, era wano abaserikale we baasinzidde okukwata Nakyaze .
Nakyaze yagambye nti yali yabadde mu kyalo Kayunga -Kangulumira kulya Ssekukkulu bwe batuuse mu kyalo omwana n'alwala n'amutwala mu ddwaliro e Jinja ne bamuteekako eccupa z'omusaayi oluvannyuma ne babasiibula era n'alinnya takisi nga January 5 omwezi guno okudda e Kampala.
Yagasseeko nti mu takisi yasazzeemu omukazi omweru gwe yazze anyumya naye bwe batuuse ku Kaleerwe okumpi ne nkulungo ku ssaawa 2:00 ez'ekiro ne bavaamu bombi n'amusaba amukwatire ku mwana n'ensawo agende yeetawuluzeeko yagenz okudda ng'omukazi abuzeewo n'omwana n'ensawo .
Yagambye olw'okuba essimu baabadde bagibbye yafunye omuzira kisa eyamuyambye n'akubira bba n'amutegeeza ng'omwana bwe bamumubbyeko kyokka n'atwatwala buvunaanyizibwa kugenda ku poliisi kugitegeeza okutuusa bba bwe yabitadde amaanyi.
"Bannange sirina mupango gwonna omwana baamuzibbyeko, omukazi yali mweru, ensobi gye nakoze ku mwesiga ku lunaku lwe namulabye kuba nnabadde simumanyi'' Nakyaze bwe yalaajanye.
Kalungi yagambye nti mwana waabwe eyabbiddwa yasooka ng'omukazi abeera mu bazadde be, ewuwe agendayo lwa lumu.
Yagasseeko nti ekisinga okumwewuunyisa, Nakyaze bwe yamukubira essimu nti omwana bamubbye yamugamba amusange ku Kaleerwe ate yamusanga avuddewo n'atandika okumunoonya .
"Obuyambi mbadde mbuwa n'omwana bwe yalwalidde mu kyalo namuweerezza emitwalo 20 kati njagala ambuulire oba omwana yamugabidde musajja mulala nkitegeere kuba toyinza kungamba nti omukazi gw'otomanyi osobola okumukeera omwana obudde bw'ekiro " Kalungi bwe yategeezezza.
Yagambye nti ng'amaze okutegeera nti omwana we abuze yagenze ku poliisi Kawempe ne bamusindika e Kanyanya okutuusa bwe baamugambye agende ku y'oku Kaleerwe gye babbidde omwana.
Miriam Ato akulira bambega ku poliisi y'oku Kaleerwe yategeezezza nti okusinziira ku sitatimenti ya Nakyaze kwe baasinzidde okumusigaza abayambeko okufuna ekituufu omwana gy'ali.
Ato yasabye abazadde okukomya okwesiga abantu be balabye olunaku olumu ne batuuka n'okubalekera abaana.
Saturday, January 9, 2021
Omukazi agambibwa okubbibwako omwana mu takisi poliisi emukutte
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...