Tuesday, January 26, 2021

'Mukomye okwenyigira mu bwegugungo'

'Mukomye okwenyigira mu bwegugungo'

Paasita Nathan Ibrahim Turyamureba ow'ekkanisa y'abalokole eya Daystar Cathedral Church mu kibuga Mbarara, alabudde abantu okukomya okwenyigira mu bwegugungo ekivaako abamu okufiirwa obulamu bwabwe.

Yennyamidde olw'abeegugunga okulumba abaserikale, okukuma omuliro mu makubo n'okukuba ebidduka amayinja olw'obululu. Yasabye abantu okukyuka okudda eri Katonda.

Ate bannaddiini yabategeezezza nti si kibi okugenda mu byobufuzi kyokka n'abajjukiza nti tebasaanye kugattika bya Katonda na bya kayisali.

Yabasabye n'okwegendereza obutagwa mu butego obuvuddeko abamu okufuuka emitwe gy'amawulire.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts