Bya Mukasa Kivumbi ne Emmanuel Balukusa
MUNNAKIBIINA kya NRM Yasin Kyazze awangudde obwa Mmeeya wa Njeru Municipality. Kyazze awangudde n'obululu 12,743 n'addirirwa Junju Aziz amuddiridde afunye 9,771olwo abalala ne bagoberera.
Ate e Lugazi , Asea John Bosco owa FDC naye awangudde obwa Mmeeya bw'ekibuga ekyo ng'afunye obululu 7,916 ate Deo Tumwesigye Mbabazi amuddiridde n'afuna 7,393.
Ssali Baker afunye 5,141 nga ate ye Mwondha Patrick owa NUP afunye 2,747 , Ssekatawa Ashiraf n'afuna 620 olwo Eliphaz Mbabazi n'afuna 128.
Asea asuubizza abamulonze okutandikira we yakoma bwe yali akyali Mmeeya wa Lugazi Town Council.Abawagizi ba Asea baakoze ka semufu ka mune gw'abadde avuganya naye Deo Mbabazi Tumwesigye ne bakeetoolooza tawuni y'e Buikwe nga bwe bayimbirako n'ennyimba ezivvoola obukulembeze bwa Mbabazi nga mmeeya aliko kati.