Wednesday, January 20, 2021

Mutale awabudde Museveni: 'Abaganda tebasosola'

Mutale awabudde Museveni: 'Abaganda tebasosola'

MAJ. Kakooza Mutale awabudde Pulezidenti Museveni nti ekya NRM okuwangulwa mu Buganda si kubeera basosoze mu mawanga, wabula baminisita be n'abamu ku babaka ba NRM mu palamenti babadde tebakyatuuka ku bantu.

Mu kulonda okwabaddewo nga January 14, baminisita 15 mu Buganda baasuuliddwa, ekiviiriddeko bannabyabufuzi abamu okukissa ku Buganda okubeera abasosoze.

"Bw'oyingira Kampala yenna n'okumwetooloola toyinza kusangamu kitundu kye bayita Buganda, owulira Kitooro, Kifumbira, Kisoga, Kikalamoja, n'ebirala, ekitegeeza nti n'amawanga amalala gakola ennamba nnene nnyo mu Kampala era ebifo mw'osanga ennyumba ennungi ezisinga si za Baganda," bwe yategeezezza, mu lukuhhaana lw'abaamawulire lwe yayise mu ofiisi ze e Mulago.

Yayongeddeko nti bw'otuuka mu kitundu nga Mityana, Ssembabule, osanga Owessaza lyayo ye Muteesa, naye faamu ezisingayo obunene n'obungi si za Baganda.

"Ekitegeeza nti abantu abaalonze Bobi Wine mu "Buganda Region" baavudde mu mawanga ag'enjawulo era ffe ssaawa zino nga NRM tulina okunoonya ekyavuddeko ebyabaddewo ne kye tukikoledde mu kalulu akaddako mu 2026.

Yagasseeko nti ne mu bitundu by'e Teso NRM ebadde emaze ebisanja bibiri (2) nga Pulezidenti Museveni abooludda oluvuganya bamuwangulirayo, wabula ku mulundi guno yawangudde kuba yagenda (Mutale) n'asimbayo amakanda okuva mu 2018 n'ategeera ebizibu byabwe.

Omuntu bw'okola obulungi osiimibwa era NRM ekoledde nnyo eggwanga lino naye bwe tuzuula awakoleddwa ensobi tulabe bwe tulongoosa era okulonda kwonna nga kuwedde hhenda kutuukirira Pulezidenti Museveni anzikirize mbe omu ku banoonyereza ku bitaagenze bulungi mu Buganda Region," Mutale bwe yagasseeko,

Yagambye nti wateekwa okubeerawo ensonga ey'enkukunala lwaki Minisita avunaanyizibwa ku byenjigiriza ebisookerwako, era omubaka omukazi owa Wakiso, Rosemary Ssenninde, mu 2016 yawangula ku bululu 300,000, ne Pulezidenti Museveni n'afuna 150,000, ate ku luno ne bikyuka.

Ku ky'amagye okubeera ewa Bobi Wine, Mutale yagambye nti baakitegeerako nti waliwo abaagala okumukozesa okutuukiriza bye baagala, nga tebayinza kukkiriza.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts