Wednesday, January 20, 2021

Biden atandikira ku kutereeza mateeka

Biden atandikira ku kutereeza mateeka

WASHINGTON, Amerika:

DONALD Trump 74 akung'aanyizzaamu ebibye n'ava mu maka g'Obwapulezidenti aga White House wakati mu kutolotooma nti obuwanguzi bwe bwabbiddwa era tagenda kuweera wadde avudde ku bwapulezidenti.

Donald Trump.

Abayambi ba Trump eggulo ku Lwokubiri lwe baamalirizza okufulumya ebintu bya Trump okuva mu maka aga White House mu kimpowooze kyokka Trump ye yasuzeemu ng'olwaleero ku Lwokusatu olunaamala okunaaba amaaso ku ssaawa nga 1:00 ey'oku makya nga yeetegeka kulinnnya ennyonyi emutwala e Florida.

Trump anaaba alinnya ennyonyi ng'omukolo ogw'okulayiza Joe Biden, 79 nga Pulezidenti wa Amerika owa 46 gutandika ku Capitol Hill. Trump yagaana okukkiriza ebyava mu kulonda kw'obwapulezidenti mu kalulu akaakubwa nga November 3, 2020 ne kawangulwa Biden kyokka Trump n'agamba nti baamubba wadde yabulwa obujulizi.

Joe Biden.

Trump teyayogedde gy'atutte bintu bye na makage wabula kiteeberezebwa nti biri New York gy'alina amaka era nga gye bamuzaala. Gyo emikolo gy'okulayiza Biden gigenda kusanga Trump ali mu ssaza ly'e Florida gy'ategese olukung'aana ne ba Republican banne abakyamukkiririzaamu nga balaga obutakkaanya bwe balina ne Amerika okulayiza Biden nga Pulezidenti owa 46.

Ku Lwokusatu oluwedde, mutabani wa Trump omukulu yalabiddwaako ne mukyala we Kimberley Guilfoyle nga basalinkiriza okufuluma amaka gano n'ebimotoka ebikubyeko ebintu byabwe ne babulawo. Muwala wa Trump omukulu, Ivanka Trump ne bba Jared Kushner be baasooka okufuluma amaka gano mu bubba ne bayingira amaka gaabwe mu kibuga Miami mu ssaza ly'e Florida ge baagula ku bukadde 30 eza ddoola.

Mu ngeri y'emu, Biden olumala okulayira ku ssaawa mukaaga olwaleero, agenda kussa omukono ku mateeka agasukka mu 10 Trump ge yassaawo ng'akozesa obuyinza bwe nga Pulezidenti, kye bayita ‘Executive orders.'

Amateeka omuli eritaasa obutonde bw'ensi, Biden ategese okusazaamu ekiragiro ekikkiriza payipu y'amafuta ebadde ezimbwa okuva e Canada etwale amafuta e Texas gye babadde bagenda okutandika okugalongooseza, bannansi bangi nga bagamba nti ettaka eringi eribadde ligenda okuyikuulwa, libadde lya kwonoona obutonde bw'ensi, kyokka ate abalala nga baasanyukira nnyo pulojekiti eno kubanga yali egenda kubawa emirimu.

Nga tannabugumya ntebe mu January wa 2017 lwe yalayira, Trump yassa envumbo ku bannansi b'amawanga 10 obutalinnya mu Amerika nga mwalimu Iran, Libya, Syria, Yemen, Somalia, Sudan, North Korea, Venezuela, Iraq n'amalala ge yalumiriza okubaamu bannalukalala abalwanyisa Amerika Trump n'abantu be bafulumyeWhite House Amerika ekyatabula abangi naddala abaalina obutuuze bwa Amerika.

Biden asikidde entebe ejjudde ebizibu omuli ebbula ly'emirimu erireese obwavu mu Bamerika n'obulwadde bwa COVID-19.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts