
Ven. Can. Godfrey BK Buwembo Ssaabadinkoni w'e Nateete abuuliridde Bannayuganda okukuuma obulamu bwabwe mu mwaka omupya beewale okweteeka mu mbeera eziyinza okubaviirako okufa.
Yabasabye buli ekibalumba bakikwase Katonda, abayambye okuyita mu mwaka omukadde y'ajja akubayamba okuyita mu mwaka omupya.
Bino abyogeredde mu kusaba kw'Olusooka omwaka ku kkanisa ya Mackay Martyrs Church e Nateete ng'okusaba kuno kwabaddemu n'okubatiza abaana.
Ven Can. Buwembo abuuliridde Bannayuganda okwewala okukola effujjo naddala olw'ebyobufuzi n'agamba nti buli muntu obulamu bwe bukulu nnyo era bwa muwendo eri ggwanga.
Buwembo buuliridde n'abakulembeze b'eggwanga okufaayo ennyo omwaka guno okukuumira eggwanga lyaffe mu mirembe.
Akuutidde abantu buli kiseera okwekwasa Katonda n'agamba nti bangi abayita mu bizibu n'okuboonaboona mu mbeera zonna okuli emirimu gyabwe, obufumbo n'ebirala wabula nabasaba byona okubikwasa Katonda oyo awangula buli mbeera .
Alabudde abavubuka abalimb limba abawala okubakuba empeta n'agamba nti omwaka guno bafube okutuukiriza ebyo bye basuubiza.
Abuuliridde n'abazadde abalina abaana ababatiziddwa okubakuliza abaana baabwe mu mpisa ez'okutya Katonda n'agamba nti omwana bw'omuwaayo eri Katonda okuva nga kyali muto kino kimuyamba okukulira mu makubo amatuufu.
Ayongedde n'abuulirira Bannayuganda okwekuuma ennyo ekirwadde kya ssenyiga omukambwe n'agamba nti ekirwadde kino kifuuse kinnamutta ng' abantu bangi nnyo abalusuddemu akaba bwatyo n'abakuutira okugondera amateeka n'ebiragiro bya minisitule y'ebyobulamu.