
EKIKANGABWA kigudde e Kasese ekisangibwa e Bulagga ku lw'e Mityana omuwala bw'alinnyiddwaako ebigambibwa okuba emizimu ne yeeggalira mu nnyumba n'agikumako omuliro ebintu byonna ne biggya ne bisaanawo.
Cissy Nakimera 23, y'alinnyiddwaako ebigambibwa okuba emizimu n'akuma omulimu mu nnyumba .
Embeera eno ewuniikiriza abatuuze b'e Bulagga abakungaanidde mu maka gano era nga bano bakubidde abazikiriza omuliro abanguye wabula bagenze okutuuka ng'e bintu byonna eby'omu nnyumba biyidde wabula basobodde kutaasa nnyumba yokka.
Maggie Nazziwa ng'ono muganda wa Nakimera ategeezezza nti bwe yakedde ku makya, muganda we n'amutegeeza nga bwe yabadde agenda okusaba.
Agamba nti mu kisenge kyabwe mwabaddemu ekibiriiti wabula bwe yabadde agenda okukikweka muganda we n'akikaayanira nga kino kye kyasoose okumukanga n'asalawo obutamuggyako maaso kuba yabadde akimanyi nti alina ebintu ebimutawaanya .
Nakimera yagambye Nazziwa amuviire mu kisenge anaabe agende okusaba kyokka bwe yafulumye ne yeesibiramu era yazzeemu okulaba ng'omukka gutandise okunyooka.
Agattako nti mwannyinaabwe yatuuse mangu ddala n'asamba oluggi wabula ng'omufaaliso n'ebintu ebisinga mu nnyumba okuli engoye byonna biyidde .
Ate ye Nakimera bamuggyemu mu nnyumba ne bamusiba ku muti ne miguwa wabula obwedda abeesikako ng'ayagala kuddayo mu nnyumba afiire mu muliro.
Annet Nakaggwa ng'ono ye maama w'omuwala ono ategezezza nti yabadde ava kusaba wabula yagenze okutuuka ewuwe ng'ennyumba ekutte omuliro.
Agambye nti omwana we alina ebigambibwa okuba emizimu ebimulinnya ku mutwe nga bino biba bimulagira okwetta.
Charles ssentongo ssentebe wa Bulaga B naye ategeezezza nti bamukubidde essimu ng'omwana yeesibidde mu nnyumba ne yeekumako omuliro.
Agambye nti guno omulundi gwakubiri nga Nakimera agezaako okwetta, ng'omulundi ogwasooka omuwala oyo baamusanga yeetutte ku Lubigi ng'ayagala kuggwaamu affe oluvannyuma lw'okuwulira amaloboozi agamugamba okwesuula mu mugga affe.