SSAABALABIRIZI w'Ekkanisa ya Uganda, Dr Stephen Kazimba Mugalu ategeezezza nga bw'agenda okusisinkana Ssaabasumba w'essaza ekkulu ery'e Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga n'abakulu mu UJCC alabe bwe bamalawo obukuubagano obuliwo.
Kazimba asinzidde mu kusaba mu maka ge e Namirembe n'agamba nti nga ye omukulembeze w'Ekkanisa tayinza kumala googera bintu byamunda eri abantu kuba tekiba kya buvunaanyizibwa eri omuntu naddala omukulembeze w'Ekkanisa.
Agambye nti ensonga zonna ezibakwatako bazimalira mu nkiiko za UJCC nga talaba nsonga lwaki azza omuliro mu bantu kuba abantu tebalina kye bakola okusalawo kukiddako wabula abakulu bekikwatako.
Wiiki ewedde ekibiina ekitaba enzikiriza mu ggwanga ekya UJCC kyategeka okusaba okw'emirembe okusabira eggwanga naddala mu kiseera kino ekirimu okulonda wabula Ssaabalabirizi Kazimba teyasobola kugendayo olw'emirimu emitongole gye yaliko banne ne bamwogerera amafuukuule.
Okusaba kuno kwatandikira Munyonyo ne kudda e Namung'oona nga kwali kwakukomekkerezebwa Namirembe wabula oluvannyuma Ssaabalabirizi Kazimba yakuyimiriza e Namirembe olw'ensonga ezitaamanyika.