Bassentebe b'amagombolola okuva mu kibiina kya NRM agakola Mukono baweereddwa pikipiki okubayambako okunoonya akalulu n'okutambuza abalonzi ku Lwokuna basobole okulonda omuntu waabwe.
Pikipiki zino zibakwasiddwa RDC, Fred Bamwine ng'omukolo gubadde ku ofiisi z'ekibiina mu kibuga Mukono. Bamwine alaze okunyolwa olw'abakulembeze ba NRM abatayagala kwambala yunifoomu y'ekibiina n'agamba nti tebakoze kimala okutunda ekibiina kyabwe.
Mu ngeri yemu alabudde abaagala okukola effujjo mu kiseera ky'okulonda nti babeetegekedde era baakukolwako ng'amateeka bwe galagira. Ssentebe wa NRM, Hajji Twahiri Ssebaggala asabye abaweereddwa pikipiki zino okuzikozesa obulungi nga batuuka ku bantu wansi okwongera okunyweza obuwagizi bwa NRM e Mukono.
Mu kiseera kye kimu ne bassentebe ba NRM mu ggombolola omusanvu ezikola Disitulikiti y'e Kalungu nabo baweereddwa pikipiki era oluzifunye ne bawera okwongera okukola obutaweera nga banyweza obuwagizi bwa Pulezidenti Museveni n'abalala aba NRM ku mitendera gyonna.
Zibakwasiddwa Hajji Twaha Kiganda Ssonko akulira NRM e Kalungu.