Saturday, January 30, 2021

Omukululo gwa Kabushenga mu Vision Group

Omukululo gwa Kabushenga mu Vision Group

ROBERT KABUSHENGA awummudde emirimu gya kkampuni ya Vision Group gy'akulembedde emyaka 14.

Okuwummula kwe, yasoose kukutegeeza mu bubaka eri abakozi eggulo: Nsazeewo okuwummula olw'ensonga zange ez'obuntu. Olukiiko olufuzi lunzikirizza okuwummula kyokka lunsabye nsigale nga nkola emyezi esatu okuteekateeka okukyusa obukulembeze bwa kkampuni.

OBUBAKA MU BUJJUVU ;

Guys, Good morning. This is to let you know that for personal reasons I have asked the Board for an early retirement and this has been accepted. However, the Board has asked me to manage the transition for the next 90 days which I have agreed to do. I am proud of the success we achieved and the impact we have had in society. This was possible because we worked together as a team. No single person could have done it on their own, certainly not me. I have always said to you that everyone in their lives should have
the privilege of working with people like you. I had a great time doing just that and for me, it was an absolute honor and pleasure to have done so.

Thank you and kind regards

Eno y'entikko y'obuweereza bwe obwatandika mu 2006 ng'adda mu bigere bya William
Pike.

Yategeezezza nti agenda kudda ku ffaamu ye eya Rugyeyo mu Wakiso alime n'okulunda. Musanyufu kubanga ekitongole akirese mu maanyi nga kiri ku ntikko y'ebyamawulire mu Uganda.

Empapula zaffe okuli Bukedde y'asinga okutunda mu Uganda, New Vision aleebya empapula z'Olungereza ate ttivvi zaffe okuli Bukedde Ttivvi y'eri ku ntikko.

Yeebazizza bakozi banne okukolera awamu naye n'abakulembera nga bamuwuliriramu
ekimuwadde omukisa okukola ebintu eby'amaanyi.

Kabaka Mutebi Ii Ng'abuuza Ku Robert Kabushenga Mu Misinde Gya Kabaka Birthday Run Egya 2019. Wakati Ye Katikkiro Charles Peter Mayiga.

Kabushenga Ng'akwasa Ssaabasumba Lwanga Ekitabo Ekirimu Amannya G'abaagula Ssapule N'okutambula Okugenda E Namugongo.

Yeebazizza olukiiko olufuga Vision Group olwamuwa omukisa okukulembera kkampuni
eno. Okwo yagasseeko okwebaza abantu abawagidde Vision Group okuli abalanga nayo, abasoma amawulire n'abawuliriza leediyo ne ttivvi.

"Nzijukira emyaka 14 egiyise we nnaleetera ekiteeso okukola emikutu gya kkampuni eno emirala okuli leediyo ne ttivvi bangi ne balowooza nti tekisoboka. Essaawa eno emikutu egyo gya maanyi era giwadde bangi emirimu n'okutwala ekitongole
mu maaso." Kabushenga bwe yayogedde ng'ali n'akulira olukiiko olufuga Vision Group
Patrick Ayota.

                       

Ayota yeebazizza Kabushenga olw'ebintu ebikulu ebingi by'akoledde kkampuni eno
mu myaka emitono gy'amaze ng'agikulembera.




Tumwebaza olw'okukulembera ttiimu y'abakozi ey'amaanyi emutuusizza ku buwanguzi
bw'atuusizza ku kkampuni eno. Ekikulu ekiriwo kati kwe kukwata empola okunoonya omuntu omutuufu okumuddira mu bigere.

By'akoze byetaaga omuntu omukozi atajja kubizza mabega wabula okubitwala mu maaso kubanga ye omusingi omugumu aguleseewo. N'ekisinga byonna, aleseewo ttiimu y'abakozi erina obumanyirivu nga yenna agenda okumuddira mu bigere yeetaaga
kuba mukulembeze mulungi emirimu gigende mu maaso.

Kabushenga (ku Kkono) Ng'ali N'akulira Olukiiko Olufuga Vision Group Patrick Ayota

Ayota era nga y'amyuka akulira ekitongole kya National Social Security Fund (NSSF) ekitereka ssente z'abakozi yajjukizza abalina emigabo mu Vision Group nti ebintu bingi ebisalibwawo biteesebwako abantu bangi Kabushenga b'abadde akola nabo wadde
nga waliwo abalowooza nti ebiba tebizze nga bwe balowooza yekka y'aba asazeewo.

ENGERI GY"AKYUSIZZA NEW VISION

EBBANGA Kabushenga ly'amaze ng'akulira Vision Group ajja kujjukirwa ng'omusajja atalina "nsisi", omumalirivu atatya kutandika bintu bipya. Takkiriza bamulwanyisa kumuggya ku mulamwa, buli ky'atandika akiggusa.

Akulembedde ttiimu ya bakafulu abakolera mu bitongole bya Vision Group ebyenjawulo n'agaziya kkampuni okuva ku kukuba empapula z'amawulire n'etandika leediyo ne Ttivvi.

Kabushenga yatandika Bukedde Ttivvi era bukya ejja mu nsiike ye nnamba emu. Gattako Urban TV ne TV West.

Kabushenga Mu Mwoleso Gwa Harvest Money E Namboole Mu 2019.

Mu leediyo yatandika Bukedde Fa-ma Embuutikizi, Etop, Rupiny, Arua One n'okugula Radio West. Yakyusa ekifaananyi kya New Vision ne Bukedde ne twongera okutuuka ku muntu waabulijjo bwe yatandika emisomo gy'okuggya abantu mu bwavu okuli Yiiya Ssente wa Bukedde, omwoleso gw'ebyobulimi ogwa Harvest Money ogubeerawo buli mwaka e Namboole; Emyoleso omuli ogwa Bride &Groom, emyoleso gy'abaana e Lugogo n'enkuuka y'abalongo (Twins Festival) , ebivvulu omuli, Embuutu y'Embuutikizi, n'ebirala.

Ye yakulembera okukunga abantu okusonda ensimbi z'okwaniriza Paapa Francis bwe yakyala mu Uganda mu November 2015.

Ye ssentebe w'akakiiko akategeka emisinde gya Kabaka egya Kabaka Birthday Run. Ng'akozesa emikutu gya Vision Group asobodde okufuula emisinde gino egy'amaanyi.

Emikutu gya Vision Group egya yintaneeti agifudde egisinga okwesigika n'okugobererwa mu Uganda. Yagula ekyuma n'okugaziya ekyapa ekikuba amawulire n'ebiwandiiko ebirala.

Vision Group yagula ekizimbe ekyalimu Club Silk (kati kiyitibwa Pike House) era ebitongole bya kkampuni byonna tebipangisa. Mu kugaziya kkampuni abantu bangi bafunye emirimu.

Olugendo lwe lubaddemu amakuuli n'enkonge mu njuyi zonna. Okuvuganya okw'amaanyi mu bizinensi y'amawulire okulimu "okulwanira" ensimbi entono eziri mu katale. Uganda ng'ensi ekyakula erimu emirimu mitono. Bangi bagirwanira n'okusinga nga bakozesa ebyobufuzi. Bano babadde batega Kabushenga amakuuli nga baloopa mu banene n'okumuwandiikako ku mikutu gya Social Media.

Kabushenga Ng'ali Mu Situdiyo Za Bukedde Fa Ma. Ku Kkono Ye Ssuuna Ben Ne Kayibanda (ku Ddyo).

KABUSHENGA YAANI

ROBERT Kabushenga abadde akulira Vision Group musajja muyivu. Alina diguli mu by'amateeka gye yasomera mu yunivasite e Makerere, ssaako dipulooma okuva mu bbanguliro lya bannamateeka erya Law Development Centre mu Kampala.

Yasomera ne mu ttendekero ly'ebyamateeka erya American Academy of International Law e Dallas Texas mu Amerika. Munnamateeka w'ekkooti enkulu era nga mmemba wa Uganda and East Africa Law Societies.

Kabushenga yakolako  mu kitongole kya Gavumenti ekivunaanyizibwa ku by'amawulire ekya Uganda Media Centre, yabeerako munnamateeka wa New vision era yakolako omulimu gwe gumu ne mu Monitor Publications Ltd.

Ng'oggyeeko ebyo, Kabushenga yamala ebbanga lya myaka mwenda ng'akola pulogulaamu naddala ez'ebyobufuzi ku leediyo, ssaako okuwandiika mu mpapula z'amawulire.

Mmemba wa Africa Leadership Initiative-East Africa era nga mmemba wa Aspen Global Leadership Network.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts