Saturday, January 30, 2021

Gavt. esalawo ku Mmande ku by'okuggulawo amasomero

Gavt. esalawo ku Mmande ku by'okuggulawo amasomero

GAVUMENTI esalawo ku Mmande ekiddako ku kuggulawo amasomero n'ebyetaagisa okukola nga gazzeemu okuggulibwawo.

Minisita omubeezi ow'ebyenjigiriza ebyawaggulu, Dr. JC Muyingo yategeezezza Bukedde nti nga minisitule y'ebyenjigiriza baatudde ku Lwokuna mu lukiiko olwa baminisita n'abakugu ne bayisa ebiteeso.

"Bye twasazeewo tubitadde mu kiwandiiko tugenda kubyanjula mu kabineeti ku Mmande olwo ky'enaasalawo bajja kukitegeeza eggwanga." Muyingo bwe yannyonnyodde.

Wabula minisita w'ebyamawulire Judith Nabakooba yategeezezza New Vision ku Lwokutaano nti okuggulawo amasomero eri abayizi abatali mu bibiina ebyakamalirizo, bagenda kusooka kwongera kwetegereza kirwadde kya Corona ku ngeri gye kisaasaanamu n'amakubo amalala ag'okukitangira n'okukirwanyisa balyoke basalewo ekiddako.

Wabula Ismail Mulindwa akulira akakiiko akalondoola amasomero yategeezezza Bukedde nti ensonga ezo zikolebwako ofiisi ya Katikkiro wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda kyokka Julius Mucunguzi omwogezi wa ofiisi eyo yategeezezza nti ensonga yabadde tannaba kugimanyaako n'asuubiza okutuddira.

Gavumenti yaggalawo amasomero gonna nga March 18, 2020 kyokka mu October
omwaka oguwedde yakkirizza abayizi mu bibiina ebyakamalirizo; P7, S4 ne S6 okuddayo era bagenda kutuula ebigezo byabwe ebyakamalirizo.

UNEB yateekawo ennaku z'omwezi okuli; March 1, 2021 abayizi ba S4 kwe batandikira okukola ebigezo byabwe, aba P7 bagenda kutuula ebigezo byabwe nga 30 ne 31 March ate S6 batandika ebigezo byabwe nga April 9, 2021.

Bano nga bategeka okutuula ebigezo, akakiiko ak'ebyenjigiriza ebyawaggulu wiiki eno kaafulumizza ekiwandiiko nga kalagira amatendekero agawaggulu okugenda mu maaso nga basomesa abayizi okuyita ku mikutu gya yintanenti okumala emyezi esatu nga tebannaba kuddayo.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts