Monday, January 25, 2021

Omulimi by'olina okukola okufuna mu binyeebwa

Omulimi by'olina okukola okufuna mu binyeebwa

EMMANUEL SSEKAGGO                                                                                                                                                   MU Uganda mulimu ebika by'ebinyeebwa ebisukka mu 26 nga buli kimu kisobola okudda kumpi mu buli kitundu kya ggwanga newankubadde nga byawula empooma oluusi ne langi. Ebika by'ebinyeebwa bino kuliko NARONUT1R, NARONUT2T, SERENUT8R, SERENUT9T, SERENUT14R, Red Beauty n'ebika ebirala.

Omulimi ng'amaze okukungula ebinyeebwa. Ekitabo ky'akutte mw'awandiika amakungula g'aba afunye.

Ebika ebisinga okwettanirwa wano kuliko Red Beauty nga kino kibaddewo okuva mu 1966, SERENUT8R ne SERENUT14R ng'ekisinga okusikiriza abantu ba Buganda okubirima kwe kuba nti birimu akawoowo, biwooma ebimekete n'enva, ekitali ku bika by'ebinyeebwa ebimu.

Ebinyeebwa bisinga kulimibwa mu buvanjuba ng'ebimu bya langi ya kabonge ate ebirala bya butolobojjo. Dr. David Okello Kalule, akulira okunoonyereza ku binyeebwa mu kitongole ekya National Semi-Arid Resources Research Institute (NASARRI) ekisangibwa e Soroti annyonnyodde ebirina okukolebwa abalimi okulaba nga bafuna mu kulima ebinyeebwa.

ETTAKA LITEGEKE BULUNGI                                                                                                                                     Olina okukabala w'ogenda okulima ebinyeebwa. Amavuunike gakube bulungi ettaka ligonde nga tonnasimba binyeebwa. Ettaka erisinga okuba eddungi ku binyeebwa lya lusenyusenyu wabula nga ne ku liddugavu biddako. Abalimi abamu bafi irizibwa mu binyeebwa nga kiva ku nsimba gye babisimba.

Abamu babifuutiika nnyo ate abalala ne babiwa amabanga amanene agayitiridde.  Ebinyeebwa naddala ebimyufu eby'ekika kya ‘Red beauty' biwe amabanga ga sentimita 45 okuva ku kikolo ekimu okudda ku kirala ate bisimbe mu nnyiriri.

 Ebinnya tebirina kuba biwanvu kukka nnyo mu ttaka era wandibadde okozesa akakumbi akakaddiye okubisima ng'ekinnya kirina okuba sentimita 5 oba 6 okukka wansi.

 Olina okukakasa nti enkuba etonnya nnyo era ng'obunnyogovu bungi mu ttaka kubanga ettaka bwe litabaamu mazzi gamala ebinyeebwa biyinza okulwawo okumera n'ebiwuka ne bibiriira mu ttaka. Bukedde 22 Mmande January 25, 2021 Omulimi by'olina okukola okufuna mu binyeebwa.

 Nga tonnasimba binyeebwa olina okukakasa nti olondamu ensigo ennungi, kyandibadde kirungi nga bw'obisusa tosussa wiiki ssatu nga tonnabisimba.

 Bw'oba ng'ekiseera ky'ogenda okumala nga tonnabisimba kisukka mu wiiki ssatu kirungi n'olindako okubisusa. Okwawukanako n'ebirime ebirala, osobola okutereka ensigo yo okumala ebbanga lya myaka ena ng'okyasimba ku nsigo y'emu.

TOSIMBA BINYEEBWA MU KIFO WE WAAKABIKUNGULA                                                                                       Dr. Okello annyonnyola nti, "Abalimi abamu bakola ensobi mu kulima ebinyeebwa nga bwe bamaliriza okubikungula ate babizza mu nnimiro y'emu sizoni eddako." Ssinga ogezaako n'obizza we byakava oba tojja kubifunamu bulungi.

Mu ngeri y'emu era tolina kusimba binyeebwa mu kifo awavudde ebirime nga ebijanjaalo, soya, obummonde n'ebirime ebirala ebigwa mu kkowe eryo. Obuwuka obulya ebinyeebwa ate bwe bumu obulya n'ebirime ebyo waggulu. Ebinyeebwa osobola okubisimba awantu awapya oba w'okungudde ebirime nga kasooli, obulo, omuwemba.

BIKOOLE OBUTASUKKA WIIKI SSATU NGA BIMEZE                                                                                           Ebinyeebwa bwe bisimbibwa, bitwala wiiki emu yokka okumera era okuva olunaku lwe bimeze, olina okubala wiiki ssatu n'obikoola omulundi ogusooka. Bwe wayitawo wiiki endala ssatu olina okuddamu n'obikoola. Abantu abamu baddamu ne bakoola ebinyeebwa bino omulundi ogwokusatu naye ettaka bw'oba walitegeka bulungi, emirundi ebiri giba gimala.

Bw'oba okoola ebinyeebwa, tolina kubiteekako ttaka lingi oba okubitemerako akakata. Bw'obiteekako ettaka ne lituuka we libadde teririna kutuuka kiyinza okuvaako okuvunda. Bw'omaliriza okukoola omulundi ogwokubiri, omuddo omulala ogumera mu binyeebwa osobola okugukuuza engalo kubanga bw'oddamu n'oyisaamu enkumbi ate otema emikono egiba gisimba mu ttaka okuteekako ebinyeebwa.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts