
ABATUUZE b'e Ntinda mu ministers Village bakedde mu ntiisa oluvannyuma lw'omuvubuka ategerekeseeko nga Ronald Kasirye ate abalala nga bagamba ye Kilonza Mandela okwekyawa n'awalampa ebyuma ebitwala amasannyalaze ag'amaanyi agafuluma eggwanga ng'ayagala gamutte.
Embeera eno ereseewo akasattiro mu kitundu ,ng'abantu bakungaanye okulaba ogubadde.
Kenneth Kanyike, ssentebe w'ekitundu kino ekya Minister's Village 9 ekikolwa kino kibeewuunyisizza era ne bakubira poliisi essimu era kibatwalidde essaawa ezisoba mu musanvu okujja okutaasa omusajja ono era nabo basitukiddemu n'abasirikale abazikiriza omuliro okuva e Kampala n'ezimu ku mmotoka zaabwe.
Beegayiridde Kasirye (Mandela) okuvaayo gy'abadde waggulu nga tavaayo.
Balabye emmotoka ze baleese tezisobola kumuggyayo olwo kwekutumya endala okuva e Ntebe n'abasirikale bayambeko.
Oluvannyuma lwa kaseera emmotoka y'abazikiriza omuliro ey'amaanyi okuva e Ntebe etuuse olwo enduulu ne yeeyongera okuva mu batuuze .
Abasirikale babadde batandise okuwanika ebyuma waggulu Kasirye (Mandela) abadde yalemeddeyo obwedda n'atandika okuvaayo mu masannyalaze waggulu mpola mpola olwo batuuze ne baleekaana nga bwe bamuwaana.
Ono olutuuse wansi asanze abasirikale ababadde bamulinze edda era bamukute ku mukono ne bamutwala mu ambyulensi ya poliisi nnamba UP 7582 ebadde emulindiridde wakati mu batuuze okuwaga.
Ye Kenneth Kanyike, ssentebe w'ekitundu kino ekya Minister's Village 9 ekikolwa kino kibeewuunyisizza era ne bakubira poliisi essimu era kibatwalidde essaawa ezisoba mu musanvu.