ADDIS ABABA, Ethiopia
ABANTU 750 ababadde beekwese mu Klezia bazingiddwaako amagye ne battibwa kirindi. Abamu baasangiddwa wabweru ne babakaka okudda munda mwe baabasasiridde amasasi. Ku bantu ababalirirwa mu 1,000 basseeko 750 omulundi gumu.
Bino byabadde mu Klezia y'Abasodokisi eya Oriental Orthodox Church mu bitundu by'abayeekera ba Tigray abalwanagana ne Gavumenti ya Ethiopia, okusinziira ku katabo k'amawulire ga Catholic World Report.
Amawulire galaga nti, amagye ga Ethiopia n'abalwanyi abapangise, baalumba Klezia ya Church of Our Lady Mary of Zion mu kibuga Axum gye baasanga abakkiriza abaludde nga bagyewogomyemu olutalo ne babazingiza.
Abamu baagezezzaako okudduka ne babakaka okudda munda n'abaasangiddwa wabweru ne babazza munda ne babasasira amasasi agasse abasinga obungi abalala ne basigala ku bisago.
Baalagidde abatafudde bafulume ne bakikola wabula olwatuuse wabweru nabo baabakubye amasasi nga balaba.
Abaawonyewo baasigazza bisago gattako abatonotono abaagudde okulowoozesa abatemu nti bafudde. Waliwo n'abeemuludde ne babasindirira amasasi agaabasse kyokka mu abo waliwo abaabuliddeyo nga tebakoseddwa.
Axum mu mambuka ga Ethiopia, kya byafaayo ekyogerwako bwe kirimu amayinja abiri okwawandiikibwa amateeka ekkumi (Ark of the Covenant). Mu Klezia ya Our Lady Mary of Zion, abagoberezi bangi balowooza nti amayinja agalimu geego gennyini
era gakuumwa butiribiri.
Mu birala ebisuubirwa okubaayo gwe muggo gwa Aaron ogw'ebyafaayo ebyagala okwefaananyiriza eby'omuggo gwa muganda we Musa.
Amawulire ga Church Times UK ag'e Bungereza, abakkiriza abamu okugenda ku Klezia eno baayagala kugikuuma olw'ebyafaayo byayo bagiwonye olutalo lw'abayeekera abalwana ne Gavumenti ya Ethiopia.
Buli ludda luludde nga lwagala okwezza ekifo ekyo olw'ebyobulambuzi ebikirimu nga bivaamu ssente olw'abalamazi abangi.
Abayeekera bagamba nti ekyawalirizza Gavumenti ya Ethiopia okulumba Klezia eno kwagala kwezza kitundu ekyo oba okuggyayo amayinja gatwalibwe mu kibuga ekikulu Addis Ababa.
Tekinnamanyika oba obulumbaganyi obwabaddewo ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde, ebyafaayo ebyo byatwaliddwa.
Gye buvuddeko, ekibiina ky'amawanga amagatte ekya United Nations (UN) kyalabula
okuggula emisango gy'ekittabantu ku bakulembeze ba Ethiopia be balumiriza okutirimbula abantu mu nfo za bakyewaggula ba Tigray ne battiramu n'abantu ba bulijjo.
Katikkiro wa Ethiopia, Abiy Ahmed okuva mu November w'omwaka oguwedde abadde
alwanagana ne bakyewaggula abaagala okwesala ku Ethiopia.
Omukulembeze wa bakyewaggula, Debretsion Gebremichael agamba nti bajja kufa olw'amaanyi ga Ethiopia g'ebakubisa abalisigalawo balifuna obwetwaze bw'ekitundu kyabwe bwe kiribeera kisobose.
Wednesday, January 27, 2021
Amagye ga Gavumenti ya Ethiopia gasse 750 mu Klezia
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...