Kyagulanyi agambye nti eggwanga obutabaamu mbeera ya kasambattuko tekitegeeza nti waliwo emirembe naye ate bweriba lirina obwenkanya emirembe gisobola okubaawo kuba bitambula byombiriri.
Bino abyogeredde mu kusaba ku Knanisa ya Omega Healing Center ekulirwa Paasita Michael Kyazze e Namasuba ku lw'e Ntebe leero ku Ssande.
Omusumba Kyazze agambye Kyagulanyi obutagwaamu maanyi mu bigambo bye by'agamba Bannayuganda kuba tebimenya mateeka n'amutegeeza nti yadde ebisoomooza bingi naye ajja kuwangula.